
Omukyala ng'ayokya ebyawongo
OMUKYALA amaze emyaka 10 mu busamize ebyawongo bimulemeredde n'asalawo okubyokeza ku kkanisa....
Mariam Tusuubira yaleese ebintu bye e Namirembe ku bulabirizi okwokyebwa oluvannyuma lw'okumulemerera nga bibadde bimusuza teyeebase era n'asalawo nti kati agenda kutandik kusinza katonda.
Moses Musimenta okuva mu kitongole ekibulizi ky'enjiri e Namirembe ategezezza nti ono bagenda kumuyigiriza okubuulira enjiri asobole okutaasa n'abalala abakozesa eby'awongo.