TOP

Ssaabalabirizi Nkoyoyo yasooka kubeera makanika

Added 6th January 2018

OKUWAAYO okutono kusinga okusaasira okungi” bye bigambo Dr. Livingston Mpalanyi Nkoyoyo bye yayogera ne bisigala mu mitima gy’abantu.

 Nkoyoyo ng’ayanirizibwa abayizi b’ekkanisa ya Uganda eya Kijjabwemi e Masaka nga October 23, 2003.

Nkoyoyo ng’ayanirizibwa abayizi b’ekkanisa ya Uganda eya Kijjabwemi e Masaka nga October 23, 2003.

Bwe yalwala n’atwalibwa e Bungereza okujjanjabwa, abaasondanga ensimbi baakozesanga nnyo ebigambo ebyo, Nkoyoyo bye yayogerera mu kuziika James Mulwana mu January 2013.

Abadde mubuulizi wa njiri atawunyikamu era nga bw’abuulira afuba okulaba nti ekigambo kinnyikidde ku mitima gy’abo baakibuulidde.

Abadde aluma amannyo ku buli kigambo. Bwe yali ayogera ne Bukedde ku buzaale bwe yattottola bw’ati:

Nnazaalibwa mu 1938 (afudde wa myaka 80). Kitange ye mugenzi Erisa Wamala Nkoyoyo ate maama ye mugenzi Nawume Nakintu.

Kitange yali mwami wa ggombolola y’e Busimbi mu disitulikiti y’e Mityana era we yabeerera Oweggombolola gwali mulembe gwa Sekabaka Edward Mutesa II.

Ng’abaami ba Kabaka bonna bwe baali, ne kitange yali mugagga era okwawukanako n’abaana abalala be twakula nabo, nze nnakula nneetooloddwa obugagga.

Kitange yalina ettaka mu Kisenyi, Kampala; e Bweyogere ng’alinayo ettaka era ng’alina n’ettaka eddala e Mityana ne Matale mu Kyaggwe.

Yalina ennyumba z’abapangisa era y’omu ku bantu abatono mu Buganda ekiseera ekyo abaalina emmotoka era yatwalibwanga ng’omusajja omugagga ebiseera ebyo.

YASOOKA BWAMAKANIKA

Okusoma yakutandikira mu Mpenja Primary School, e Gomba oluvannyuma ne yeegatta ku Aggrey Memorial School gye yava okugenda mu Mityana Junior Secondary.

Oluvannyuma yava mu ssomero era omulimu gwe yatandikirako gwa kukanika mmotoka.

Yagamba nti yali ayagala nnyo emmotoka era kye kyamutwala mu bwamakanika.

Okukanika yakusomera mu Uganda Company Garage era kitaawe yamukimanga mu ggalagi ng’amaze okutendekebwa wamu ne banne era yabavuganga abakuutira babeere bakozi nnyo.

Mu 1959 yali ku lukung’aana lw’abavubuka ku kkanisa y’Endoddo mu Gomba n’alokoka era yasikirizibwa Omulabirizi Festo Kivengere.

Oluvannyuma yasalawo okuva mu bwamakanika n’ayingira obuweereza era nga June 3, 1969 yafuulibwa omwawule mu bulabirizi e Namirembe.

Oluvannyuma yafuulibwa Omulabirizi eyasookera ddala ng’Obulabirizi bw’e Mukono buteekeddwaawo era waayita ekiseera kitono n’alondebwa okubeera Ssaabalabirizi wa Uganda ng’adda mu bigere bya Yona Okoth.

Obwassaabalabirizi yabulya mu 1995 era yabumalako emyaka 9 n’awummula mu 2004 ng’awezezza emyaka 65 egy’essalira.

Yaddirirwa Henry Luke Orombi ku bwassabalabirizi. Yawasa Ruth Nalweyiso Nkoyoyo mu May 1, 1965 ne bazaala abaana bataano okuli abawala babiri n’abalenzi basatu.

Mu 2015 baajaguzza emyaka 50 mu bufumbo obutukuvu ku mukolo ogwali e Namirembe.

Ebimu ku bijja okulwawo nga bimujjukirwako y’engeri gy’abadde akubirizaamu abavubuka okukola era abadde n’engombo ‘Buli ky’okola kola mangu.’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basindikiddwa mu kkomera lw...

ABAASANGIBWA n’ebyambalo bya UPDF basindikiddwa mu kkomera.

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...