TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaabalabirizi afudde atuukirizza okulabikirwa kwe yafuna ewa Katonda ku Namugongo

Ssaabalabirizi afudde atuukirizza okulabikirwa kwe yafuna ewa Katonda ku Namugongo

Added 6th January 2018

Ssaabalabirizi afudde atuukirizza okulabikirwa kwe yafuna ewa Katonda ku Namugongo.

 Nkoyooyo ng’alambula omulimu ogwali gukolebwa mu myuziyamu e Namugongo.

Nkoyooyo ng’alambula omulimu ogwali gukolebwa mu myuziyamu e Namugongo.

Ssaabalabirizi afudde atuukirizza okulabikirwa kwe yafuna ewa Katonda ku Namugongo.

Ate enkyukakyuka eziri e Nakiyanja leero Ssaabalabirizi eyawummula Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo y’asinze okuziwomamu omutwe.

Engeri gye yafunamu ekirooto ky’okukyusa Namugongo agamba nti kwali kwolesebwa kwennyini era ye agamba nti kaali kabonero kennyini akalaga nti ne leero Katonda akyalabikira era n’ayogera eri abantu be.

Ekyamagero kye kino akikunyumiza otudde wamu: “Lwali lwa June 12, 2013 ku ssaawa ttaano bwe najja wano e Nakiyanja ne mpulira eddoboozi nga lihhamba nti “ekifo temukiraba nga bwe kiri obubi!”

Naddamu nti nkiraba kuba nange nali nnenya balala nga ndowooza nti Mulabirizi oba Ssaabalabirizi be banaakikola naye ng’eddoboozi lihhamba nti ggwe ogenda okukikola.

Naddamu nti nze nawummula dda sikyalina wonna we nsumba naye eddoboozi ne liremerako nti ojja kukikola.

Ate okwolesebwa kweyongera nga kundaga nti ekizimbe kye hhenda okuzimba kigenda kubeera nga kiwanvu nga kuliko emyaliiro ebiri oba esatu nga kiriko obusatu waggulu waakyo n’omuliro ogwaka ogw’Abajulizi nga mulimu obusatu obutuukirivu nga bulabika kubanga abattibwa mu kifo kino e Namugongo mwalimu Abakulisitaayo, Abakristu n’Abasiraamu.

Ekyo kyandaga nti ekifo kino kikulu mu madiini gonna. Kye kitugatta oba oli Musiraamu, Mukristu oba Mukulisitaayo. Eddoboozi lyeyongera ne lihhamba nti ojja kukikola.

Olwo nno kwe kutuukirira be kikwatako ng’emitendera gy’Ekkanisa bwe giri ne mbategeeza okwolesebwa kwange nabo ne bahhamba nti kirungi tujja kutambula naawe, bwe tutyo ne tutandika okuteekateeka.

Bwe nafuna okwolesebwa kuno nalaba omuvubuka wange Waliggo, ne mmubuulira nti nafunye ekirooto.

Olwokuba nti ye musiizi wa bifaananyi, buli kye namugambanga ng’ateeka wansi. Oluvannyuma bwe twamala okulaba nti kivuddeyo, kwe kutuukirira omukubi wa pulaani Stephen Tebyasa ne mmutegeeza ekirowooza ye n’akirungiya era ne muvaamu pulaani ey’omulembe nga bw’ogiraba, okukulaakulanya Namugongo eno mu Bakulisitaayo.

(Bisimbuddwa mu kitabo kya Bukedde: Paapa Francis : Olugendo lwa Paapa ow’enjawulo n’abajulizi Ab’ebyewuunyo)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....