TOP

Trump alabudde owa North Korea akomye okweraga

Added 8th January 2018

DONALD Trump agambye nti Pulezidenti wa North Korea lwa kwewaga, naye munda akimanyi nti “Trump tasaagirwako!”

Yayanguye n’okwongerako nti owa North Korea era akimanyi nti Amerika teyeepankirwako.

Trump eyabadde ayogera n’abakulembeze mu kibiina kya Republican mu lusirika olwabadde mu Camp David mu ssaza ly’e Maryland mu Amerika, yagambye nti Pulezidenti Kim Jong Un yandibadde mugezi n’akkiriza okuteesa nga tebannamusesebbula.

Kim ng’ayita mu bakungu be yabadde alaze nti asobola okulowooza ku by’okuteesa ssinga okuteesa okwo tekubeeramu kusindiikirizibwa oba okujoogebwa wabula nga kutegekeddwa mu ngeri essa ekitiibwa mu North Korea ng’eggwanga ery’amaanyi.

Wiiki ewedde, Kim ne Trump buli omu yaweze okunyiga eppeesa ly’ebyokulwanyisa nnamuzisa (Nuclear).

Kim ye yasoose okulaalika Amerika nti bw’eba emusoomooza ekimanye nti amapeesa aganasula “Nuclear” yagasembezza ku mmeeza ate Trump n’amwanukula nti; “Amapeesa agange ge matuufu, manene okusinga agago ate buli we ndaga ntambula nago.”

North Korea okusiinya ku by’okuteesa yakikoze mu nteekateeka gye baliko ey’okusindika abaddusi okwetaba mu mpaka za Winter Olympics ezitegekeddwa mu kibuga kya South Korea ekiyitibwa Pyeongchang omwezi ogujja.

Trump yagambye nti eby’okuteesa tabirinaako buzibu kasita tebibeeramu kuwudiisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...