TOP

Okusomooza Nkoyoyo kw'ayiseemu n'entalo z'alwanye

Added 8th January 2018

DR. NKOYOYO alwanye entalo z’omubiri n’omwoyo okuva nga mwawule. Kyokka ezisinze amaanyi azirwanye afuuse Ssaabalabirizi wakati wa 1995 – 2004. Katonda amusobozesezza okuyita mu mbeera zonna.

 Dr. Nkoyoyo ng’akomyewo okuva e Bungereza okujjanjabibwa.

Dr. Nkoyoyo ng’akomyewo okuva e Bungereza okujjanjabibwa.

DR. NKOYOYO alwanye entalo z’omubiri n’omwoyo okuva nga mwawule. Kyokka ezisinze amaanyi azirwanye afuuse Ssaabalabirizi wakati wa 1995 – 2004. Katonda amusobozesezza okuyita mu mbeera zonna.

OLUTALO LW’OBULABIRIZI BWA BUSOGA

Eyali Omulabirizi wa Busoga, Cyprian Bamwoze yalemwa okukkaanya n’Abakrisitaayo abeemulugunya nti yali abanyigiriza. Ekkanisa yeetemamu ebiwayi bibiri, abawakanya Bamwoze n’abamuwagira.

Abamuwakanya baayagala okwekutula ku Busoga ne balonda omwawule Lubogo abakulembere. Baagoba Bamwoze mu Lutikko e Bugembe era yamala emyaka ena nga talinnyayo.

Olukiiko lw’Abalabirizi lwatuula nga lukubirizibwa Nkoyoyo ne lusalawo okuteekawo embeera y’okutegeeragana n’okukkaanya. Baasalawo Bamwoze agende mu luwummula okumala omwaka mulamba olwo Nkoyoyo n’asigala nga y’alabirira Obulabirizi bwa Busoga.

Yasobola okuzza embeera mu nteeko okutuusa Bamwoze lwe yawummula n’asikirwa Omulabirizi Michael Kyomya.

BATEGA OMULABIRIZI W’E MUHABURA EMPISO

Mu 2001 olukiiko lw’Abalabirizi lwalonda Rev. Can. David Sebuhinja ng’Omulabirizi wa Muhabura omuggya.

Omukubiriza w’Abakrisitaayo Philemon Mateke yakwatagana Abakrisitaayo ne bamusimbira ekkuuli. Olumu Abakristaayo baatega Omulabirizi empiso mu ntebe mw’atuula.

Nkoyoyo bwe yagenda okubatabaganya, baggyayo emiggo ne bakubagana ng’alaba. Naye baamwegezaamu n’agwa kkava wansi w’emmeeza!! Yatuuka kuwummula mu 2004 ng’embeera teteredde.

Ssaabalabirizi Henry Luke Orombi eyaddira Nkoyoyo mu bigere, yasitula Abalabirizi ne bagenda e Muhabura ne bayita Omulabirizi Shalita eyali yawummula kyokka ng’akyalina ebintu by’ekkanisa ne bamusaba abizze.

Kyasalibwawo Sebuhinja atuuzibwe ng’Omulabirizi ku mukolo gwe gumu kwe baatuuliza Omulabirizi Rev. Daniel Gimadu owa North Mbale nga December 10, 2006.

Kyokka Sebuhinja baleme kumutuma mu Bulabirizi era e Muhabura ne balonderayo Rt. Rev Cranmer Mugisha n’atuuzibwa mu August 2007.

BAMUYITA MU KKOOTI

Ng’awummudde, kkooti Enkulu yamulagira yeeyanjule mu kkooti olw’omwana omulenzi eyali agambibwa okufiira mu kidiba ng’awuga mu kifo kya Nkoyoyo ekya Rest Gardens e Bweyogerere. Omusango gwawaabibwa Umaru Mazinga ne Suzan Nantogo bazadde b’omwana Hassan Nantegolola eyafa.

ETTAKA

Mu 2014, kkooti Enkulu yalagira Nkoyoyo yeeyanjule oluvannyuma lwa Dr. Fedrick Njuki eyali akolera mu Amerika, okwekubira enduulu ng’alumiriza Nkoyoyo okwekobaana ne baganda be (Njuki) ne batunda ettaka kitaawe Erik Kibuye Ganja Njuki (omugenzi) lye yabawa e Wakiso.

Nkoyoyo ye yali omukuza Dr. Njuki yali awaabye emisango ebiri ogumu mu November 13, 2014 n’omulala mu March 31, 2015 ng’asaba kkooti eragire balimuddize. Nkoyoyo emisango yagyegaana. Oluvannyuma akulira abawaabi ba Gavumenti yawabula okuggyayo omusango mu kkooti.

OKUZIMBA CHURCH HOUSE

Church House ku Kampala Road, yali etutte ebbanga ddene ng’eremye. Nkoyoyo bwe yajja mu 1995 n’akunga Abakristaayo okusonda ssente z’okugizimba n’atema evvuunike naye omulimu ne gwesiba era n’awummula nga teguwedde.

Ssabalabirizi Orombi naye teyagumaliriza okutuusa Stanley Ntagali bwe yajja n’assaamu amaanyi era ekizimbe banaatera okukiggyako engalo.

OKUZIMBA ENNYUMBA YA SSAABALABIRIZI

Nkoyoyo bwe yafuuka Omulabirizi w’e Mukono, yazimba ennyumba nnene. Abagenyi be bonna ne famire ye nga babeera omwo. Kale yafuna okusomoozebwa bwe yafuuka Ssaabalabirizi n’agenda e Namirembe ng’eriyo ennyumba ntono nnyo (eyenkana eddiiro ly’e Mukono) ate nga nkadde. Yakunga Abakrisitaayo n’azimba ennyumba ennene eya kalina egya mu kitiibwa kya Ssaabalabirizi.

YUNIVASITE Y’E MUKONO

Bwe yali Omulabirizi w’e Mukono yalina ekirowoozo ekkanisa ya Uganda okufuna yunivasite okuyamba abaweereza okweyongerako okusoma bafune diguli. Mu kiseera ekyo amatendekero g’abaawule gaali gagaba satifikeeti ne dipulooma.

Bwe yalya Obwassaabalabirizi n’ayisaamu ekiteeso ekisuumusa ettendekero ly’abaawule e Mukono okufuuka yunivasite kati eyitibwa Uganda Christian University (UCU).

EBYAMAGERO KATONDA BY’AMUKOLEDDE

1 Yava mu ssomero nga muto (yasoma kitono). Yayingira galagi okuyiga okukanika ate gye yava okuddayo okusoma obwawule n’alinnya amadaala okufuuka Ssaabalabirizi n’afuna n’ekitiibwa kya Dokita.

2 Ekiseera ky’obulamu bwe ekisembyeyo afunye okusomoozebwa kw’obulwadde n’atuuka okutwalibwa e Bungereza okumulongoosa kookolo w’emimiro. Baamulongoosa n’akomawo nga mulamu.

3. Yali alondeddwa okukulembera omulimu gw’okukulaakulanya olubiri lw’e Mmengo kyokka n’afuna okusomoozebwa ng’ebiwayi eby’enjawulo birina engeri gye byagala omulimu gukolebwe ate nga buli abavaayo okwogera bagamba nti be bannannyini Lubiri.

4 Mu 1969 we yafunira obudinkoni, kitaawe Erisa Wamala Nkoyoyo yali mulwadde muyi era omukolo guno ogwali ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo w’agenda okuziikibwa, kitaawe yagwetabako nga muyi.

5 Olwamala okufuna obudinkoni ne bamutuma okuweereza e Kasubi, yasulanga mu nnyumba ya budongo nga bagiseresezza ssubi. Ennaku eyasooka yonna yamuggwaako nga bamulonze okubeera Ssaabalabirizi mu 1995.

N’okuzimba Namugongo tebibadde byangu. Afunye obuwagizi butono okuva mu makanisa, kyokka n’akozesa okusinga mikwano gye okuli Pulezidenti Museveni okunoonya ensimbi olw’omulimu ogwo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...