TOP

Omwaka gukutulemu emirundi 3 okutuukiriza ebiruubirirwa byo

Added 10th January 2018

BW’OBA otegekera omwaka olina okugusalamu ebitundu, bw’otagusalamu weesanga byonna by’olowooza tobikoze.

 Ffaayo okumanya kasitoma ky’ayogera ku bizinensi yo omwaka guno gikuyambe okulongoosa

Ffaayo okumanya kasitoma ky’ayogera ku bizinensi yo omwaka guno gikuyambe okulongoosa

Emyezi gyonna gya njawulo era girina ebikolebwako ebitafaanagana. Okugeza January, February, March, ne April giba myezi gya kuteeka mu nkola bintu byewategeka okutambuza mu mwaka.

Kyokka May, June, July ne August, nagyo giba gya kuteeka mu nkola. Sso nno emyezi okuli September, October, November ne December giba gya kuggalawo mwaka.

Wano w’olina okwetegerereza biki ebikukoledde obulungi n’ebyo ebitatambudde bulungi n’okuzuula ensonga ezivuddeko byombi, mu luzungu kino kiyitiibwa ‘strategic planning’. Mu nkola eno, otandiika omwaka ng’omanyi by’ogenda okukola era bw’oba osaasaanya ssente omanya wa w’otandikira ne wookoma.

ENSOBI

Abasinga tukola ensobi, tutandika omwaka nga tetulowoozezza bye tugenda kukola olwo ne tusuubira nti tunaalowooza wakati mu mwaka. Kino si kituufu era weesaanga olina bingi by’otalowoozezzaako.

Mu bintu by’olowoozaako nga tonnatandika mwaka mwe muli engeri gy’onaayongera ku nfuna yo eya ssente. Muno mulimu gy’onasuubula na kiki ky’onaasuubula era baani abanaakuwola oba abanaakuwa ebintu by’otunda.

EBBULA LYA SSENTE

Abasuubuzi bangi abalowooza nti ssente zibuze, kino si kituufu. Nze ndowooza tezinnabula, wabula ffe abatunda ekintu kye kimu tweyongedde sso ng’ate baali betunoonyamu ssente basigadde be bamu. Ekirala abantu bangi bakyusizza endowooza yaabwe ku ngeri gye basaasaanyamu ssente.

BAKASITOMA

Buli mwaka tufuna bakasitoma abapya wabula waliwo abatuvaako. Kale kyandibadde kirungi buli mwaka ne weetegereza b’ani abakugulako.

Osobola okumanya ebibakwatako ng’oyita mu nkola eya ey’okubawuliriza kye bagamba ku bizinensi yo.

Wano oba owadde kasitoma wo omukisa okukuwa amawulire g’oyinza okukozesa okulongoosa omulimu mu mpeereza oba mu nkola yennyini ey’ekintu ekyo ky’oba otunda.

Kasitoma bw’otamuwa mukisa kukubuulira, olwo oba omusindiise kubuulira balala ate bbo we bamusanyusa bayinza okumukutwalako. Kasitoma alinga mwami oba mukyala, bw’olagajjala nga bamutwala.

BY’OSASULA

Weegendereze by’olina okusasula. Waliwo by’osasula buli mwaka okugeza ssente z’obupangisa, yinsuwa ne layisinsi, ate waliwo by’osasula buli mwezi okugeza abakozi, amasannyalaze sso ng’ate waliwo by’osasula buli lunaku okugeza paakiingi, kasasiro n’ebirala.

Ffaayo okulaba ng’ebintu bino byonna obirambika bulungi, bw’otakikola weesaanga mu buzibu. Tomala gasasula bintu by’otaategeka; nedda. Sasula ebyo byokka by’olina okusasula.

EKIRUUBIRIRWA

Mu buli ky’okola, ffaayo okulaba nga kituukana n’ekiruubirirwa kyo. Kkampuni buli kiseera eba n’ekiruubirirwa, katugeze bwe liba ssomero, liba n’abaana be balina okubeera nabo buli mwaka. Kino bwe kitatuukirizibwa wabaawo obuzibu.

Kkampuni zonna kati ennene zikola endagaano n’abakozi nga ziruubirirwa okufuna omutemwa gwa ssente.

Ssente zino bwezitafunika wabaawo obuzibu. Kiba kyetaagisaayo omuntu alina obumanyirivu obw’okusobola okutuusa kkampuni w’eyagala. Omuntu takyamala gatuula mu kkampuni nga tafuddeeyo ku ngeri gy’eyingizaamu ssente.

ENSASAANYA

Mu buli ky’okola oba ky’otekateeka, ffaayo ku nsaasaanya. Tokiriza kuteeka ssente zo mu kinnya kitakoma.

Wabeewo ekkomo, ssente tebamala gazisaasaanya kuba okuzifuna kizibu, kati lwaki omala gazisaasaanya?

Yiga enkwata ya ssente ne Hajji Jamil Ssebalu, mukugu mu byenfuna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. George Kiwanuka

E Gomba bazuddeyo omulwadde...

ABATUUZE b'e Gomba basattira oluvannyuma lw'okuzuula omusuubuzi abadde abasuubulako ebirime ng'alina ekirwadde...

 James Kasozi Muwonhe ne muzzukulu we Allan Kazibwe

Omwana atemyetemye kitaawe ...

Omwana akkidde kitaawe n'amutemaatema ng'amulanga kugaana kumuwa mugabo gwe.

Minisita Anywar atya okutam...

AMAZZI g'ennyanja Nalubaale eyabooga ne gasalako oluguudo katono galemese Minisita okutuuka ku mwalo gw'e Kamuwunga...

Omusumba atonedde Poliisi e...

Ne yeeyama okwongera okuteekawo enkolagana eyamaanyi wakati wa poliisi n'omuntu wa bulijjo.

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...