TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazigu bamutemyeko omutwe ne gugwa eri ne bamuleka awo!

Abazigu bamutemyeko omutwe ne gugwa eri ne bamuleka awo!

Added 11th January 2018

ABATUUZE b'e Banda mu Wakiso baguddemu ekikangabwa mutuuze munnaabwe bwe bamusanze ku makya nga yatemeddwaako omutwe ne gugwa wali.

 Omulambo gwa Nsamba nga bagutwala.

Omulambo gwa Nsamba nga bagutwala.

Julius Nsamba 34 ye yatemeddwaako omutwe mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu era abatuuze baakedde kusanga musaayi mu mulyango gwa Nsamba okuggulawo ne bagwa ku kiwuduwudu nga omutwe guli awo ebbali.

Bateebereza nti, obutemu buno buyinza okuba nga bwavudde ku ttaka kitaabwe lye yaleka eriweza yiika 30.

Kitaawe omugenzi Charles Lubega yafa mu 1980 n'alekera yiika z'ettaka 30 n'alagira mutoowe Joseph Matovu okukuza abaana be yaleka n'okubagabanyiza mu ttaka ng'ekiseera kituuse.

Matovu yagambye nti, mukulu we yaleka abaana babiri okuli Yiga Kiwanuka ne Julius Nsamba gwe basse.

Abatuuze balumiriza nti, Yiga Kiwanuka ateekwa okuba ng'amanyi ku kyasse muganda we era nga bamulumiriza nti, alina ky'amanyi kubanga bwe baakedde ew'omugenzi ye teyalabiseeko ate nga naye amaka ge gali ku ttaka lino.

Ku Lwokubiri akawungeezi, Yiga ne Nsamba baalabiddwaako nga bali bombi akawungeezi ate enkeera omu n'azuulwa ng'attiddwa mu ntiisa.

Ku makya (ku Lwokusatu) omu ku baliraanwa b'omugenzi, Florence Nakayiza yategeezezza nti, yawulidde ng'omugenzi akomyewo ekiro kyokka teyategedde kyaddiridde.

"Nneekanze okulaba ng'ennyumba ya Nsamba eriko omusaayi ku makya ne hhenda ne nkonkona wabula nga tewali annyega kwe kuyita batuuze bannange tulabe ekikyamu", bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, abatuuze baasazeewo okusamba oliggi, "Twekanze nnyo okulaba nga Nsamba yattiddwa nga n'omutwe gwe gwatemeddwaako ate nga bamuzazise mu buliri bwe. Twayise poliisi n'etuuka mu bwangu ", Nakayiza bwe yagambye.

Ssentebe w'ekyalo, Edward Wampamba yategeezezza nti, abooluganda bano baludde nga tebalima kambugu ng'entabwe eva ku ngabana y'ettaka lya kitaabwe lye yabalekera nga buli omu ayagala y'aba alirinako obuyinza obwenkomeredde.

Wampamba yasabye abantu okukomya okuttihhana olw'ettaka wabula bagende eri abakulembeze basobole okugonjoola ensonga zaabwe okusinga okumalawo obulamu.

Poliisi y'e Wakiso yaggyeewo omulambo gwa Nsamba n'egutwala mu ddwaaliro e Mulago kyokka abaserikale baagaanyi okubaako kye boogera ku ttemu lino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...