TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Mulindwa Muwonge: Ebyavudde mu musaayi biraga abaana 12 kw'abo 34 si babe!

Mulindwa Muwonge: Ebyavudde mu musaayi biraga abaana 12 kw'abo 34 si babe!

Added 11th January 2018

MULINDWA Muwonge nga tannafa yaleka akoze olukalala lw’abaana be 34 era mu kumuziika, abaana abo bonna baayanjulwa mu b’ekika.

 Omugenzi Mulinda Muwonge

Omugenzi Mulinda Muwonge

Ku lukalala olwo, abaana 12 basuuliddwa ebbali nga beesigama ku byavudde mu kukebera omusaayi (DNA).

Mu kusooka tewaaliwo kubuusabuusa baana, wabula okusika omuguwa ku nzirukanya y’ebintu bye yaleka bwe kweyongera ne kisalwawo abaana bonna nga tebannaweebwa mugabo gwonna, basooke batwalibwe ku musaayi.

Ekyo kyatuukibwako mu December w’omwaka oguwedde nga ofiisi ekola ku bintu by’abafu (Administrator General) emaze okuyingira mu nkaayana ku bintu bya Mulindwa n’abaana be yaleka.

Nga bali mu ofiisi ya Administrator General, abakazi mukaaga katono bakubaganire mu ofi isi ng’abamu balumiriza bannaabwe nti baasiba Mulindwa abaana ate kati bakaayanira omugabo ku bintu by’omusajja atali kitaabwe.

Beerangira obwenzi n’okugaba abaana mu basajja ab’enjawulo era ofi isi ya Administrator General kwe kusalawo basooke bagende ku musaayi era abanaaba bayise mu kasengejja, baddeyo mu ofi isi eyo battaanye engabana y’ebintu.

ABAANA 13 BOKKA BE BAKAKASIDDWA

Lipooti ezasiddwaako omukono gwa Dr. Freddie Bwanga ne Alfred Okenga nga ziriko sitampu ya MBN Clinical Laboratories Ltd abaakebedde omusaayi, zaakakasizza abaana 13 bokka kw’abo abaatwaliddwaayo.

Bwe kyasalibwawo abaana bonna batwalibwe ku musaayi okukakasa oba bonna ba Mulindwa Muwonge, abakazi abamu baakiwakanya nga bagamba nti omugenzi bw’aba yakkiriza abaana mu bulamu era nga teyaleka kiragiro kya kubakebera musaayi, tewali ate nsonga lwaki batwalibwa ku musaayi.

Abakazi abamu abaawakanya eky’okutwala abaana ku musaayi baagaana okuwaayo abaana 9 okukkakkana nga mu kyuma batutteyo abaana 25 kw’abo 34 Mulindwa be yaleka.

Ku baana be bataatutte ku musaayi kwe kuli n’omusika Elias Mulindwa Muwonge Junior azaalibwa Sarah Mulindwa ow’e Wakaliga nga kigambibwa nti abaasimbidde ekkuuli okukebera omwana ono baagambye nti tewali ngeri ate omusika gy’ayinza kubuusibwabuusibwa.

Mu kulomba dduwa ya Muwonge mu September w’omwaka oguwedde, abaana abawala baalonda Elias Mulindwa Muwonge 20, asoma mu St. Mary’s High School Lubaga okubasikira era mu kuvuganya ku busika yamegga Mboowa Muwonge.

Kino kyakolebwa kubanga Mulindwa Muwonge yafa talonze mwana anaamusikira. Abaana 25 baatwaliddwa ku musaayi nga December 18, 2017 ne babakeberera mu ddwaaliro erya MBN Clinic Laboratories erisangibwa e Nakasero.

Ebyavudde mu musaayi byakakasizzaako abaana 13 ate abaana 12 (amannya galekeddwa) ne biraga nti Mulindwa Muwonge si y’abazaala era ba nnyaabwe ne baweebwa amagezi baddeyo eka beefumiitirize bazuule ba kitaabwe b’abaana abatuufu.

Ku baana be baasudde ebbali kuliko n’ab’omukyala omukulu Hellen Nambi eyasigala mu maka g’e Nalumunye agabaddeko ennyo okusika omuguwa.

Okuva Mulindwa Muwonge (eyali omukozi ku leediyo) lwe yafa nga July 19, 2017; amaka g’e Nalumunye we wabadde ensitaano y’enkaayana ezimaze emyezi mukaaga.

ENKOLA EYAKOZESEDDWA ABASAWO

Olwokuba Mulindwa Muwonge tebaamuggyaako musaayi nga tebannamuziika, abasawo baggyeeyo emu ku nkola ze batera okukozesa ku baana abaliko enkaayana ate nga bakitaabwe baafa.

Abasawo baalagidde bakyaala b’abaana bonna babatwaale. Baafunye abaana munaana abazaalibwa abakazi ab’enjawulo ne babaggyako omusaayi era bwe baabakebedde ng’omusaayi gwabwe gukwatagana ne kikakasibwa nti abo bagatta taata era ne kitwalibwa nti taata oyo ye Mulindwa Muwonge.

Ebyavudde mu kukebera abaana abo yafuuse minzaani gye baapimiddeko abaana abalala era okukkakkana ng’abaana 12 ebyabwe tebikwataganye n’ebyabo omunaana abaasoose okukeberebwa.

Kino abasawo baakikoze okwewala okuziikula ebisigala bya Muwonge. Enkola endala etera okukozesebwa ebeera ya kuggya musaayi ku jjajja w’abaana, wabula eby’embi ate taata wa Mulindwa Muwonge yafa dda ate okufuna owooluganda nakyo kyakalubye.

FAMIRE YEETEMYEMU

Ebyavudde mu musaayi bwe byafulumye, byewuunyisizza ba namwandu, abaana, n’aba famire era abamu baabigaaniddewo ate abalala ne basigala nga nabo tebakakasa oba ddala ebifulumiziddwa bituufu.

Abamu ku baana abakulu be baakulembedde kaweefube atwala bannaabwe ku musaayi basooke basunsule nga tebannagabana maali kitaabwe gye yaleka.

Omu ku baana abakulu (erinnya lirekeddwa) kyokka nga naye omusaayi gwalaze nti si wa Mulindwa Muwonge yatadde akaka nti: Byonna bifu era tewali ayinza kubigenderako.

Tugenda kubiwakanya mu makubo gonna agasoboka. Bagenda kutubuulira oba taata baamuziikudde ne bamukebera nga ddala tetuli baana be!

Yagambye nti omugenzi yaleka olukalala lw’abaana be bonna 34 ng’abamanyi era abaakoze eby’omusaayi baabadde n’ebigendererwa eby’okwagala okwawula mu famire.

Yannyonnyodde nti okuggyako ng’omu ku bakyala y’avuddeyo n’alaga nti omwana yamusiba Muwonge naye omwana talina ngeri yonna gy’asobola kwegaana mwana munne nti tebamuzaala mu famire eyo.

“Abaakoze ebyo baagenderedde kwagala kwekomya bya bugagga bya kitaffe. Yatuleka fenna tuli wamu kyokka abamu bwe batuuse ku ddaala erigabana ebimu ku by’obugagga ate ne batabukira abalala era y’ensonga lwaki batuuse ku ddaala erigenda ku musaayi” omu ku baana bwe yakkaatirizza ng’alaga obunyiivu.

Wabula omu ku baganda b’omugenzi ayitibwa Sula Muwonge yategeezezza nti bagenda kutuula baddemu basalewo ekiddako kubanga kizibu nnyo ate okuwakanya ebyavudde mudde musaayi nti bikyamu.

Yagambye nti: Sisobola kuwakanya saayansi ku byafulumiziddwa, naye tugenda kutuula nga famire tuteese ku kiddako.

Lipooti eraga nti abaana b’omukozi ku Leediyo Simba Connie Nalugwa okuli Rahim Kamoga, Lania Namulindwa ne Rahil Nsamba bonna omusaayi gwabakakkasizza nti ba Mulindwa ssaako n’owa Jalia Mirembe. Muwonge yazaala omwana omu mu Mirembe.

Wabula bannamwandu be baagobezza abaana nabo bakutte wansi ne waggulu nga bagamba nti waabaddewo okupanga okusibira abakazi abamu ebbali mu lutalo lw’ebintu.

Ebimu ku byobugagga Mulindwa Muwonge bye yaleka kuliko amaka g’e Nalumunye, Poloti ze yali tannaba kuzimbamu nnyumba e Nalumunye, Gayaza ne Wakiso.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...