TOP

Ebigezo bya PLE bifuluma leero

Added 12th January 2018

MINISITA w’Ebyenjigiriza, Janet Museveni afulumya leero (Lwakutaano) ebyava mu bigezo bya PLE.

 Odongo akulira UNEB yasoose kusisinkana Muky. Museveni.

Odongo akulira UNEB yasoose kusisinkana Muky. Museveni.

Bino by’ebigezo bya PLE eby’omulundi ogwokuburi, Muky. Museveni by’agenda okufulumya bukya alondebwa nga Minisita w’Ebyenjigiriza nga June 6, 2016.

Omwogezi wa Minisitule ey’Ebyenjigiriza Patrick Muinda yategeezezza nti, Minisita agenda kufulumya ebigezo PLE ku ssaawa 5:00 ez’enkya.

Abayizi 646,080 be baatudde ebigezo bya PLE nga November 2 ne 3, 2017 mu masomero 12,751 okwetoolola Uganda yonna. Ku bayizi 646,080.

Abaana 333,495 bawala ate abalenzi 312,585. Bano be bayizi ba P7 abakyasinze obungi okutuula PLE bukya nkola ya UPE etandika mu 1997. Mu 2016 baatuula 640,860 ate mu mwaka 2015 baali 621,401.

Omuwendo gw’abayizi abaatudde PLE gwandibadde gusingawo ku bayizi 646,080 kyokka abayizi aba UPE abasoba mu 10,000 tebeewandisa kutuula PLE oluvannyuma lw’abakulira amasomero okukizuula nga baakibogwe ne babazzaamu P6.

Akulira UNEB Daniel Nokrach Odongo yategeeza gye buvudeko nti disitulikiti ezimu ezibadde zikola obubi ennyo mu PLE okuli; Kyankwanzi, Mayuge, Iganga, Serere, Namutumba, Bulambuli, Kaliro, Kween, Luuka, ne Buyende zaatandise enkola empya ey’okusooka okugezesa abayizi ba P7 nga tebannawandisibwa kutuula bibuuzo bya UNEB era abayizi nga 10,000 baawandulwamu ne batatuula PLE.

Eggulo, ttiimu y’abakungu ba UNEB nga bakulembeddwa Odongo basisinkanye Muky. Museveni ng’ali ne Minisita w'eggwanga avunaanyizibwa ku masomero ga pulayimale Rose Senninde ne bamuyitirayitiramu mu byavudde mu bya PLE.

Okufaanana omwaka oguwedde, ebyava mu PLE 2016 lwe byafulumizibwa nga January 12, 2017, n’ebya 2017 bifulumiziddwa nga January 12.

ABAYIZI BAAYITIDDE WAGGULU

Ensonda mu beetabye mu kugolola ebigezo bya PLE zaategeezezza nti, abayizi baayitidde waggulu okusinga abaatuula emyaka egyayita.

Abayizi baasinze kuyita essomo lya SST, ne Ssaayansi wabula abasinga basomoozeddwa Okubala n’Olungereza.

Mu bya PLE ebya 2016, abayizi baasinga kuyita ssomo SST ne baddako Olungereza ate Okubala ne kubayisa bubi.

Abayizi abaayita SST baali ebitundu 90.2 ku 100 ate abaayita Olungereza bali ebitundu 86.9 ku 100.

Essomo lya Ssaayansi abayizi baalyefubako ng’ebitundu 85.2 ku 100 baaliyita ate Okubala ne kubatawaanyaamu ng’abaakuyita baali 75.1 ku 100.

Mu PLE wa 2016, ebibuzo by’abayizi 1,886 byakwatibwa olw’ebigambibwa nti amasomero gaabwe gaakoppa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Endabirira y'akamwa n'amannyo.

▶️ Olabirira otya akamwa n'...

▶️ SSAAYANSI W'OBULAMU; Olabirira otya akamwa n'amannyo.  

Yiga okukola emisubbaawa awaka.

▶️ Yiga okukolera emisubbaa...

▶️ Yiga okukolera emisubbaawa awaka ofune ensimbi.

Dr. Specioza Wandira ng'annyonnyola.

▶️ Dr. Specioza Wandira aku...

▶️ Dr. Specioza Wandira akubirizza abantu okugenda babageme Covid 19.

Natalie E. Brown

Omubaka wa Amerika mu Ugand...

OMUBAKA wa  Amerika mu Uganda Natalie E. Brown ayagalizza  Abasiraamu ekisiibo  ekirungi n'agamba nti kino kibeera...

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...