TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omuvubuka omulokole yantamya abasajja

Omuvubuka omulokole yantamya abasajja

Added 12th January 2018

NZE Esther Esekenye 23, mbeera Kamwokya. Omuvubuka omulokole yamenya omutima n’antamya ebintu by’omukwano.

Baatukuza batubuulirira okwekuuma abalenzi kuba abasinga baba baagala kukumanya oluvannyuma ne bakusuulawo.

Ebigambo bino nkuze bindi ku mutima, era nzijukira bwe nali mu S5, nafuna mukwano gwange omulenzi bwe twakwatagana mu by’okusoma n’okuwahhana amagezi mu nsonga ezitali zimu.

Yalina muganzi we bwe baakwatagananga mu by’omukwano, nange ne nfuuka mukwano gw’omuwala era ng’ambuulira buli kimu ekyali kigenda mu maaso mu mukwano gwabwe. Bwe twamala S6, twayawukana buli omu n’agenda ku yunivasite ey’enjawulo naye nga tulabagana ng’ab’omukwano abasatu.

Wabula ebigambo bazadde bange bye bahhambanga, natandika okubiraba ku mulenzi ono eyali mukwano gwange bwe yatandika okunkwana.

Kino kyampisa bubi kuba yali akimanyi nti muganzi we yali mukwano gwange era ng’ambuulira buli kimu. Okuva olwo enkolagana yaffe we yakoma.

Wabula ekiseera kyatuuka nga mmalirizza yunivasite ne ndaba nga neetaaga okufuna omulenzi gwe tunaafumbiriganwa naye. Wano we nnafunira omuvubuka omulokole ng’ono yali amaze ebbanga ng’ankwana.

Entandikwa yali nnungi wabula tuba tuwezezza emyezi ena nga twagalana, yatandika okunyaniriza ewuwe gye yali asula, ng’olumu hhendayo ne mulabako.

Lumu nagenda ewuwe ku makya ne simusangawo. Naye olw’okuba nnali mmanyi ekisumuluzo w’akitereka, naggulawo kuba nnali njagala kusiiba wuwe.

Wabula mba nnakamalawo akabanga katono, waliwo omuwala eyajja ng’ayita muganzi wange erinnya olwo kwe kundaba.

Namubuuza kye yali ayagala kwe kuhhamba nga ffembi bwe twagala omulenzi omu naye nkigumire kuba teri musajja w’omu era n’atuula.

Ekyewuunyisa, omuvubuka ono bwe yakomawo n’alaba omuwala omulala n’anneefuulira ng’ambuuza akyandeese ewuwe nga taliiyo bwatyo n’andagire okufuluma ennyumba ye nga tannankola kizibu.

Nakaaba nga bwe nnejjusa ekyanzikirizisa omuvubuka ono olwo ne nzijukira ebigambo bya bazadde bange ne ntambula ne nzira awaka naye nga nfa ennaku.

Okuva olwo abasajja mbatya kyokka ate nga nnina okufumbirwa naye simanyi omutuufu y’ani?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...