TOP

Omubaka Igeme Nabeta bamugobye mu Palamenti

Added 12th January 2018

ABADDE omubaka wa Jinja East Munisipaali, Nathan Nabeta (NRM) ali mu maziga. Kkooti emugobye mu Palamenti gy’abadde amaze omwaka n’omusobyo lwa kukyusa bululu.

 Nabeta ng'alonda mu 2016. Ku ddyo ye MunnaFDC, Paul Mwiru bwe baali ku mbiranye

Nabeta ng'alonda mu 2016. Ku ddyo ye MunnaFDC, Paul Mwiru bwe baali ku mbiranye

Abalamuzi era balagidde akakiiko k’ebyokulonda okutegeka okulonda okupya mu bwangu okujjuza ekifo kya Nabeta.

Eno ye kkooti ebadde esembayo Nabeta mw’abadde asigazza essuubi nga kati takyalina walala waakuddukira okuggyako okudda mu kalulu n’avuganya.

Ne ssuubi lya FDC Paul Mwiru abadde asuubira nti abanaalagira y’aba agenda mu Palamenti, abalamuzi okubadde eyali amyuka Ssaabalamuzi Steven Kavuma, Richard Buteera ne Paul Mugamba baAmumazeemu amaanyi bwe bagambye nti tebasobola kwesigama ku bululu bwakyusibwa kulagira muntu kufuuka mubaka kubanga tebayinza kukakasa oba ng’abantu gwe baagala.

Mwiru yasooka n’atwala Nabeta mu kkooti enkulu, omusango n’agusinga ew’omulamuzi Lydia Mugambe ng’agamba nti Nabeta yeekobaana n’akakiiko k’ebyokulonda okukyusa obululu.

Omulamuzi yakkiriziganya naye n’alagira Nabeta ave mu Palamenti, Mwiru agiyingire nga July 18, 2017. Kino kyawaliriza Nabeta okujulira ng’awakanya ensala ya Mugambe.

Abalamuzi bwe bazzeemu okwetegereza fayiro, bakkiriziganyizza naye nti kituufu Mugambe yakola nsobi okuwa Mwiru eky’obubaka kuba ensonga enkulu yali ku kujingirira bululu era nga kkooti tesobola kuwa muntu buwanguzi ng’esinziira ku bululu obujingirire.

Mwiru alagidde Nabeta n’akakiiko k’ebyokulonda okumuliyirira ssente z’asaasaanyizza mu musango guno.

Nabeta olwawulidde ensala y’abalamuzi, yagambye nti ekyasaliddwaawo kya bwenkanya, ka baddeyo mu kalulu abalonzi basalewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nubian Li (alina masiki emmyuufu), Eddy Mutwe (emabega we) ne bannaabwe mu kaguli ka kkooti y’amagye e Makindye..

Aba People Power bapondoose...

ABAWAGIZI ba People power 35 okuli omuyimbi Nubian Lee ne Eddy Mutwe bapondoose ne baddamu okwegayirira  kkooti...

Omutuuze ng'alaga ennyumba ya Kasumba mwe yagyiridde.

Eyagyiridde mu nju asattizz...

Entiisa ebuutikidde abatuuze b'oku kyalo Katanjovu mu ggombolola y'e Kapeke mu disitulikiti y'e Kiboga bwe basanze...

Male eyasibiddwa ng'ali mu kaguli.

Ddereeva asibiddwa lwa nkof...

DDEREEVA wa takisi avunaaniddwa olw'okwambala enkofiira emmyufu emanyiddwa nga ey'amagye ga UPDF. Isma Male...

Abasajja bano abeefuula ab'ekitongle ky'amazzi ne babba Abachina.

Abeefuula abakozi mu kitong...

Poliisi ng'eyita mu bitongole byayo okuli ekikessi, ekinoonyereza ku misango n'ekitongole ky'amagye ekikessi ekya...

Ssewannyana ng'annyonnyola bannamawulire.

Njagala ntebe ya FUFA - All...

Allan Ssewanya omubaka wa Makindye West alangiridde nga bw'agenda okwesimbawo ku ntebe ya Pulezidenti wa FUFA asigukkulule...