
Minisita w'ebyenjigiriza n'emizannyo, Janet Kataaha Museveni ng'ayogera oluvannyuma lw'okufulumya ebyava mu bigezo bya PLE
Kino kitegeeza nti ku buli bayizi 100 abaatudde PLE mu 2017, abayizi mwenda (9) bokka be baafunye guleedi esooka.
Odonga yategeezezza nti omuwendo gw’abayizi abaayitidde mu guleedi esooka ku luno gukendeddemu bw'ogeraageranya n’abaatuula PLE mu 2016 ng’a kw’olwo abaayitira mu guleedi esooka baali 63,400 nga bano baali abayizi ebitundu 10 ku 100.
Abayizi abaayitidde mu guleedi eyookubiri, Odongo yagambye nti bali 293,977 nga bano baafunye obubonero obuli wakati wa 13 ne 23 nga bano baasinze obungi ku baayitira mu Gguleedi eyokubiri mu PLE wa 2016 abaali 251,787.
Odonga yagambye nti kino kitegeeza nti ku buli bayizi 100 abatuudde PLE abayizi ebitundu 46 baayitidde mu guleedi eyookubiri.
Abaayitidde mu guleedi eyookusatu bali 128,573 nga bano baafunye obubonero wakatu wa 24 ne 29 nga bano baakendeddeko mu bungi ku baayitira mu guleedi eyookusatu mu 2016 abaali 129,252 guleedi eyookuna yayitiddemu abayizi 91,504 nga bano be bayizi abaafunye obubonero obuli wakati wa 30 ne 34.
Abaayitira mu guleedi eyokuna mu PLE wa 2016 baali 81,2100.
BAASINZE KUYITA SST ne SSAYANSI
Nga Bukedde bwe yabagambye ng'ebibuuzo tebinnafulumizibwa, abayizi baasinze kuyita amasomo ga; SST ne Ssaayansi.
Odongo yagambye nti SST abayizi gwe baasinze okwegirisizzaamu nga baamuyise ne bakunakkuna ne baddako Ssayansi.
Abayizi ebitundu 94.6 baayise SST ate abayizi ebitundu 88.3 ne bayita Ssaayansi.
Okubala n’Olungereza, abayizi tebaakuyise bulungi ng’abaayise Olungereza bali ebitundu 85.6 ate abaayise Okubala bali ebitundu 83.8 ku 100.
Lipoota ey'abaagolodde ebigezo bya PLE bino, yalaze nti abaana ab'omulundi guno baalaze omutindo okusinga abazze batuula mu myaka egiyise bukyanga PLE atandika kukolebwa mu Uganda.
" Empandiika y'abaana erongoose nnyo ate ng'engeri gye baddamu ebibuuzo eraga nti obwongo bwabwe busaza kimu," Lipoota y'abaagolodde ebigezo bwe yalaze.