TOP

Janet Museveni akambuwadde ku bubbi bw'ebigezo

Added 13th January 2018

Janet Museveni akambuwadde ku bubbi bw'ebigezo

 Ssentebe wa UNEB Polof. Mary Okwakol ng'akwasa Minisita w'Ebyenjigiriza Janet Museveni.

Ssentebe wa UNEB Polof. Mary Okwakol ng'akwasa Minisita w'Ebyenjigiriza Janet Museveni.

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Kataaha Museveni akaaye ku basomesa abayamba ku bayizi okubba ebigezo n’alagira ebbaluwa zaabwe zisazibwemu n’okwasanguzibwanga baswazibwa mu bantu bonna.

Bino yabyogeredde ku ofiisi ya Katikkiro wa Uganda ku mukolo gw’okufulumya ebyavudde mu bigezo bya P.7 ebya 2017. Yategeezezza nti kibi nnyo okuba nga waliwo abasomesa abalemedde ku muze gw’okubbira abayizi ebibuuzo, abamu ne batuuka n’okubalagirira obutereevu ekintu eky’obulabe eri eggwanga. “Omusomesa buli lwabbira omuyizi ekibuuzo abeera amutendese obubbi era omwana akula akimanyi nti okubba si kibi.

Omuze guno tulina okugumalawo ng’abasomesa abamu tusazaamu ebbaluwa zaabwe awamu n’okubasanguza amannya gaabwe mu bantu bonna babamanye,” Janet Museveni bwe yagambye.

Yasuubizza nga bwagenda okukola buli ekisoboka okutangira omuze guno ng’awaayo obukuumi obwetaagisa mu kukuuma ebibuuzo ku mitendera gyonna. Abakulira ebyenjigiriza mu disitulikiti n’abakulembeze abalala baasabiddwa nabo okukwatira awamu okulwanyisa omuze gw’okubba ebibuuzo kuba gutattana ebiseera by’abayizi eby’omu maaso. Ababaka ba Palamenti, Janet Museveni yabasabye bwe babeera mu konsitityuwensi zaabwe bafube okulondoola ebyenjigiriza bisobole okukulaakulana.

Okutandika nga January 24, 2017 okutuuka nga January 25, 2017 amasomero lwe gajja okusunsula abayizi abagenda mu S.1 ng’omukolo gujja kubeera mu kibangirizi kya bannamakolero e Lugogo.

Abayizi okuba nga baayise nnyo S.S.T ne SSAayansi kyasanyusizza nnyo minisita, kyokka n’alaga okwennyamira olw’okubeera ng’amasomo g’oluzungu n’okubala tegaakoleddwa bulungi. Yasiimye disitulikiti ezisobodde okulinnyisa omutindo nga Sembabule, Kiboga, Kalungu ne Kaabong n’ategeeza nti wadde teziri mu zaasinze mu ggwanga kyokka zeeyongedde omutindo.

Ebimu ku bintu minisitule bye yeenyumirizzaamu kwe kuba nga wabaddewo emisomo eri abasomesa abali mu disitulikiti ezaali zikola obubi ekiziyambye okweyongerako. Janet Museveni yennyamidde olw’emmotoka ne pikiPIKI ezaaweerezebwa ku disitulikiti okukola emirimu, ate okuba nga zeeyambisibwa okukola emirimu gye zitateekeddwa kukola.

Rosemary Kizza Seninde yaloopedde Janet Museveni abakulira amasomero abaagaana abayizi okukola ebibuuzo olw’okuba nga baali tebasasudde bisale bya ssomero. Yagambye nti obuvunaanyizibwa bw’okusitula ebyenjigiriza mu ggwanga mulimu munene ogwetaaga buli muntu okusitukiramu. ABAWALA BE BAABADDE ABANGI Polof. Mary Okwakol, ssentebe wa UNEB yagambye nti omuwendo gw’ bayizi abawala gwe gwasinze abalenzi obungi.

Yalaze nti waliwo disitulikiti ezaatuuzizza abayizi nga batono bwogeraageranya ne be baatuuza mu 2016. Kino kyavudde ku kubeera ng’abakulira ebyenjigiriza baateekawo ebibuuzo ng’abayizi okuwandiisibwa balina kusooka kubiyita. Kyokka waliwo ne disitulikiti ezeeyongedde ennyo abayizi abaatudde naddala mu bitundu gye balina abanoonyi b’obubuddamu abangi.

Ebibuuzo bya 2017 byalaze nti abayizi beeyongedde okuwandiika obulungi era nga basobola okunyonnyola bye bawandiika mu bujjuvu okusinga bwe kibadde emabega. Okwakol yennyamidde olw’omuze gw’okubba ebibuuzo gwe yagambye nti gutattana eggwanga. Kyazuuliddwa ng’abayizi bangi be baakwata baali bagezaako okufuna obuyambi okuva ebweru.

Ebibuuzo by’abayizi ebyakwatiddwa bigenda kwongera okwetegerezebwa nga banoonyereza ku bayizi era n’abayizi bajja kwenyonnyolako. Kyasaliddwaawo nti okutandika ne 2018, ebitongole byokwerinda bijja kuwerekeranga ebibuuzo okubituusa ku masomero.

Yalabudde abantu obutawugulwa na bintu bye balaba ku mikutu gya mawulire egya social media n’ategeeza nti si nkola ya UNEB okuyisaako obubaka nga balina ensonga gye baagala okutuusa eri eggwanga.KAMPALA ezzeemu okwetikka disitulikiti endala bw’efunye abayizi 7754 abayitidde mu ddaala erisooka n’eddirirwa Wakiso n’abayizi 4370, Mukono efunye 2842 ate Masaka efunye 1465.

Disitulikiti ezikoobedde kuliko Amdat efunye babiri mu ddaala erisooka, Kitgum efunye 5 ne Buvuma yafunye 6.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...

Nabunya ne bba Sheikh Muzaata (mu katono).

Muka Muzaata ataddewo obukw...

MUKA Sheikh Nuhu Muzaata ataddewo obukwakkulizo okuddayo mu ddya. Kuluthum Nabunya yanoba kati emyazi esatu. Muzaata...

Abantu nga babuuza ku Amuriat.

Amuriat abuuzizza ku balonz...

PATRICK Oboi  Amuriat (POA) eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti owa FDC   ayolekera Kabale naye asoose  ku ssundiro...

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo alonded...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...