TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebimu ku bigezo by'amasomero amanene bikwatiddwa

Ebimu ku bigezo by'amasomero amanene bikwatiddwa

Added 13th January 2018

Ebimu ku bigezo by'amasomero amanene bikwatiddwa

 Odongo, owa UNEB.

Odongo, owa UNEB.

EBIGEZO by’abayizi 194 aba Seeta Parents e Mukono bikwatiddwa lwa kukoppa. Abayizi 44 mu Kyengera Parents e Mugongo mu Wakiso nabo ebyabwe bikwatiddwa n’eby’abaana bana Habaabu Rahman Islamic e Mityana.

Ebigezo ebikwatiddwa byonna awamu mu ggwanga by’abayizi 2,559. Amasomero amalala ge bakwatidde ebigezo mu Wakiso kuliko; St. Pius Masajja PS nga by’abayizi musanvu, St. Theresa Mixed PS abayizi 37, New Hope Kimbejja Junior abayizi 48 ne Namasuba UMEA omuyizi omu. E Mukono bakutte bya Seeta Parents ne Bamusuuta PS abayizi 62.

Omuwendo gw’abayizi be baakwatidde ebigezo mu 2017 gweyongedde okulinnya. Mu 2016 baakwata eby’abayizi 1,886 ate ku mulundi guno bakutte by’abayizi 2559. Omuwandiisi w’ekitongole ky’ebgezo ekya UNEB, Dan N. Odongo yategeezezza nti be baakwatidde ebigezo bagenda kubayita bannyonnyole era ebinaava mu kwennyonnyolako kwe kunaasinziirwa okusazaamu ebigezo oba okubibawa. Amasomero amalala kuliko Gombe Standards PS e Butambala abayizi basatu, Kigungumika PS e Bukomansimbi abayizi 45 ne Hope Lives Elementary PS e Alebtong abayizi 28.

E Bundibugyo waliyo Mantroroba PS abayizi 80, Kabuga PS abayizi 17 ne Super PS abayizi 56. Bushenyi baakutte ebya Jesus Cares PS abayizi 39, Kyamuhunga PS abayizi 62 ne Bushenyi Town School abayizi 67.

Butaleja baakutte ebya Hasabya PS abayizi 45, Buyende baakutte bya Kisakye IFC abayizi 12, Ntaala PS abayizi 22. Gomba bakutte ebya Najjooki PS Gomba abayizi 16. Iganga bakutte ebya Buwooya PS abayizi 78, Kabarole bakutte bya Christ Aid PS abayizi 43 ne Rutooma “B” PS abayizi 58.

Kagadi bakutte ebya Rutabagwe PS abayizi 31, Kagadi Day & Boarding Town PS abayizi 51, Kaliro bakutte ebya Kyani Parents PS abayizi 77. Disitulikiti y’e Kamuli bakutte ebya Nabirumba PS abayizi 52, Kasozi PS abayizi 63.

Kasese bakutte ebya Kithambayiro PS abayizi 25, Kanyampara SDA PS 99, Nyakabingo PS abayizi 55 ne Rwenzori Elverum Image PS abayizi 23. Kyankwanzi bakutte bya muyizi omu okuva mu Kigabwa PS. Kyenjojo amasomero okuli: Igoma PS abayizi 44, Kajuma Parents P/S abayizi 34, Nyabirongo PS abayizi 74, Kagorogoro PS abayizi 81, Kaihura PS abayizi 68 ne Kasamba PS abayizi 7.

Masindi bakutte bya Kijura Infants PS abayizi 14, Mitooma bakutte bya Kabira PS abayizi 37, Mutara PS abayizi 59 ne Mubende bakutte bya muyizi omu okuva mu Lutunku. Kalagala PS abayizi 37.

Ntungamo bakutte Rwentobo Prep. School abayizi 75, Kiyoora PS abayizi 47 ne Kiyanja PS abayizi 50. Rakai ne Sembabule bakutte ebyaKisaayi PS abayizi 60, Lwakololo PS abayizi 69, Katimba PS abayizi 30 ne St. Lawrence Kizibazzi PS abayizi 3. Sheema bakutte ebya Kabwohe Mixed PS abayizi 43, Nyabishera PS abantu 27 ne Nganwa Junior School abayizi 105.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....