TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abalokole balidde matereke n'abasamize poliisi n'ebiyingiramu

Abalokole balidde matereke n'abasamize poliisi n'ebiyingiramu

Added 16th January 2018

OLUTALO lubaluseewo wakati w’abalokole n’abasamize ku mugga Mayanja e Katale - Bunnamwaya Ngobe, okukkakkana ng’abalokole bagobye abasamize n’okwokya amasabo agabadde mu kifo kino.

 Abalokole nga bakuba omusamize olwogoolo

Abalokole nga bakuba omusamize olwogoolo

Bino byabaddewo oluvannyuma lw’abantu okumala ebbanga nga beemulugunya ku ngeri abasamize gye babadde beeyisaamu, ng’abamu bagamba nti basobya ku bakazi n’okukwata abawala ekyawalirizza abatuuze nga bali n’abalokole okwekubira enduulu eri poliisi.

Abalokole b’ekkanisa ya Redeemed Life Church e Bunnamwaya nga bakulembeddwaamu omusumba Mark Kiyaga Tendo, baakulembedde abatuuze ne bookya amasabo n’okukoona amayumba agaazimbibwa mu kifo kino nga bagamba nti abasamize basussizza okwenyigira mu bikolobero.

Bagamba nti oluzzi abatuuze kwe baasenanga amazzi ku bwereere abasamize baatandika okugabaguza ng’embeera bw’ekalubye kwe kusalawo okwegatta babagobe.

Akulira poliisi y’e Kajjansi, Hillary Mukiiza yatuuzizza olukiiko mu kifo kino okutabaganya abasamize n’abalokole wamu n’abatuuzeawatali kuyiwa musaayi.

Mu lukiiko, abatuuze beekokkodde abasamize ne bagamba nti, wadde ekifo kino kya buwangwa naye abasamize bakifudde kyakufereramu bantu n’ebikolobero.

Kasalina Bukirwa Muyingo, akuuma ekifo yagambye nti kyali kya buwangwa naye nga ssi kukubawo nkambi na kulagulirawo nga bano bwe baabadde bakola, n’agamba nti ekyo kibadde kimenya mateeka era basaanye baveewo.

Hajji Musa Muyingo, ssentebe w’ekyalo Katale Mayanja yagambye nti, ekifo kino kikolerwamu obufere era abasamize basaana okukivaamu.

Abatuuze bakkaanyizza ne babagoba kyokka Mukiiza n’abasaba okukuuma emirembe n’abasamize okusooka okweyanjula nga tebannaba kusenga mu kifo kyonna.

Omusumba Kiyaga yasabye abantu okudda eri Katonda kibataase okwenyigira mu bikolwa ebya Sitaani.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...