TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Beebazizza Katonda olw'abayizi 57 bonna okuyitira mu ddaala erisooka

Beebazizza Katonda olw'abayizi 57 bonna okuyitira mu ddaala erisooka

Added 16th January 2018

Abayizi, abasomesa wamu n'abazadde b'essomero lya Yudesi Primary School beebazizza omutonzi olw'obuwanguzi bwe baafunye mu bigezo bya P.7.

 Abazadde n'abasomesa mu kusaba kw'okwebaza Katonda olw'obuwanguzi bwe baatuuseeko

Abazadde n'abasomesa mu kusaba kw'okwebaza Katonda olw'obuwanguzi bwe baatuuseeko

BYA PROSSY NABABINGE

Abayizi, abasomesa wamu n'abazadde b'essomero lya Yudesi Primary School beebazizza omutonzi olw'obuwanguzi bwe baafunye mu bigezo bya P.7.

Bano baatuza abayizi 57 era nga bonna bayitidde mu ddaala erisooka.

Abazadde ku mukolo gw'okwebaza Katonda

 

Sheik Suudi Kaweesa eyakulembeddemu edduwa ey'okwebaza yasiimye abayizi obutabaswaza olwo ye Rev. Julius Matovu n'akuutira abo bonna abeetabye mu kusaba kuno okukulembezanga Katonda mu buli kyebakola.

Abayizi bano bateekeddwako emikono okusobola okusigala nga bakola bulungi ku mutendera oguddako era oluvannyuma, dayirekita w'essomero lino Sir. Margret Mukasa awadde buli muyizi "pocket money" wa 50,000/- okubayambako mu Ssiniya.

Dayirekita Margret Mukasa ng'ali ne Shafic Katumba, ono ye yakutte ekifo eky'okuna mu Kampala nga yafunye obubonero 4

Abasomesa nabo basimiddwa era nga buli D1 eyaleeteddwa mu ssomo obwedda esasulibwa 50,000/.

Oluvannyuma abayizi bano baweereddwa satifeketi wamu n'ekijjulo makeke okubasiima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...