TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Sobi aba Flying Squad batandise okumukunya ku by'okutta abantu

Sobi aba Flying Squad batandise okumukunya ku by'okutta abantu

Added 16th January 2018

SOBI yagenda ku ttivvi n’ategeeza nga bwe watagenda kubaawo bubbi mu Ssekukkulu kuba ye y’abadde akulira ebibinja by’ababbi, naye obubbi yabuvaamu! Okuva olwo abantu babadde beewuunya omuntu ng’ono okuvaayo ne yeewaana nga bwe yatta abantu n’okunyaga kyokka ne watabaawo kimukolwako.

 Sobi (mu kifaananyi ku mpingu) nga bamulinnyisa akamotoka ka poliisi okumutwala e Nalufenya. Ku ddyo ng’akutte emmundu.

Sobi (mu kifaananyi ku mpingu) nga bamulinnyisa akamotoka ka poliisi okumutwala e Nalufenya. Ku ddyo ng’akutte emmundu.

Wabula eggulo, poliisi yamuzinzeeko ne banne abalala babiri okuli Shafik Kasozi ne Kim Kimbugwe.

Abaserikale okuva ku poliisi y’e Nsangi be baakutte Sobi. Baamusanze ku Rose Gardens e Kyengera ng’agenda mu lukiiko lw’abaamawulire abeeko by’ayogera.

Sobi olwamukutte, baamutwaliddewo e Nalufenya okutandika okumubuulirizaako naddala ku bye yayogera nti asse abantu bangi era n’okubba nti era alina n’abamu ku baserikale naddala mu poliisi b’akolagana nabo mu ttemu lino n’obubbi.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigire yakakasizza okukwatibwa kwa Sobi n’agamba nti baagala ayongere okubannyonnyola ku ky’okutta abantu kye yategeeza eggwanga era ababuulire n’abaserikale ba poliisi be yayogerako b’akolagana nabo mu bumenyi bw’amateeka buno.

Mu kamu ku butambi Sobi mw’ayogerera ku bikolobero by’azze akola, agamba nti ajjukira abantu bangi b’azze atta nti naye olw’obutajjukiza bang'anda z’abantu bano nnaku gye bayitamu, yasalawo okusirikira amannya g’abagenzi, obulamu bugende mu maaso.

Sobi yakwatibwa mu mwaka gwa 2012, ku ttemu eryali ku Arua Park omwattirwa abantu n’okunyaga ekibanda ky’ensimbi era yatwalibwa e Luzira n’asibwa.

Oluvannyuma yateebwa, n’ategeeza nga bwe yali avudde ku by’okubba nga kati akolagana ne poliisi okugiyambako okulwanyisa ettemu n’obubbi.

Wabula gye buvuddeko yavaayo n’ategeeza nga bwe yali afunyemu obutakkaanya n’abamu ku banene mu poliisi era emirimu gye n’agikyusa n’agizza mu kitongole kya ISO.

Mu November w’omwaka oguwedde, akulira ISO Col. Frank Kaka Bagyenda yategeeza nti baali bakolagana ne Sobi okubayambako okukwata ababbi ab’olulango era bakolagana n’abamenyi b’amateeka abalala mu kugezaako okubakozesa batuuke ku bantu bennyini abakyamu be babeera banoonya.

Wabula okukwatibwa kwa Sobi kuyinza okwongera embiranye eriwo wakati wa poliisi ne ISO ng’ebitongole bino byombi birudde nga bikuubagana ku ngeri gye bikolamu emirimu. Mu biseera bya Ssekukkulu, Sobi yakola ekikwekweto mu Kisenyi ng’ali wamu n’aba ISO ne bakwata abamenyi b’amateeka.

Kyokka baali babakwata, ne wabaawo atemya ku poliisi ya Old Kampala n’ebarumba ne beenyoola okumala ekiseera wabula oluvannyuma poliisi yategeera nti abaali ne Sobi baali baserikale, nabo kwe kuvaayo ne bagenda olwo Sobi ne banne ne bagenda n’ekikwekweto mu maaso.

SOBI Y’ANI?

  • Sobi ng’amannya ge amatuufu ye Paddy Sserunjogi, yali muvuzi wa takisi ku siteegi y’e Luzira.
  • Agamba nti ekiseera kyatuuka nga ssente tezijja ate ng’alina ebizibu bingi, n’asalawo okutandika okubba obuntu obutonotono ng’obusawo bw’abakyala.
  • Abaserikale baamuyambanga kinene okumuggyanga mu kkomera buli lwe baamusibanga era nga bamuyamba ne mu kkooti okulaba nti avvuunuka emisango olwo n’addamu okutta n’okubba n’afuna ssente.
  • Yagenda mu ggiimu n’azimba omubiri era bwe yatandika okubba, ssente z’ajja kyokka nga bamukwata ne bamusibayo wiiki oba ennaku n’avaayo n’atandikira we yakoma.
  • Agamba nti kiseera kyatuuka n’akwatagana n’abamu ku baserikale mu poliisi abaamuwanga emmundu n’abba n’abaleetera omunyago.
  • Omusango ogwamusibisa ebbanga eddene, lyali ttemu n’obubbi ebyali ku Arua Park. Kyokka Sobi agamba nti yali ayitawo buyisi n’asanga nga poliisi esazeeko ekifo era mu kavuvuhhano kano yakwatibwa n’atwalibwa e Luzira n’aggulwako ogw’obutemu.

Oluvannyuma yateebwa, n’alangirira nga bw’alokose n’ava mu bubbi era poliisi n’emusembeza n’atandika okukolagana nayo ng’agiyambako okukwata ababbi ab’omutawaana mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...

Mwanje eyabula.

Omusajja eyabula yeeraliiki...

Ssande Mwanje 37, ow'e Gganda yeeraliikirizza mukyala we Aisha Nakanjako 28. Ono yamulekera abaana bana: omukulu...