
Innocent Kasumba ku kkono ne Frank Gashumba nga bali mu kkooti.
Bya ALICE NAMUTEBI
Mu lutuula lwa kkooti olwayita Gashumba, muganda we Innocent Innocent Kasumba ne Ismail Kiyingi baaleetebwa ku kkooti ya Buganda Road mu maaso g’omulamuzi James Ereemye ne basomebwa emisango egyekuusa ku kweyita kye batali kyokka tebaaweebwa mwagaanya gwa kukkiriza oba okugaana musango kubanga abawaabi ba gavumenti tebaaliwo nga bali mu keediimo.
Eggulo kkooti yazeemu okutuula Gashumba ne banne ne babasomera emisango ne bagyegaana omuwaabi wa gavumenti Nelly Asiku n'asaba omulamuzi nti engeri gye beeganye emisango basindikibwe ku alimanda.
Asiku yannyonnyodde omulamuzi nti yakkiriza Gashumba yeeyimirirwe kubanga ky'ali tekinnamanyika oba ng'omusango anaagwegaana oba anaagukkiriza naye engeri gy'agwegaanye asindikibwe ku limanda okuggyako ng'akoze okusaba okupya.
Wabula looya wa Gashumba Denis Nyombi yasitukiddewo n'asaba omulamuzi alagire Asiku aleete etteeka mw'asinziira okusaba okweyimirirwa kwa Gashumba kusazibwemu awatali mateeka ge bamanye ng'okugaana okweyanjula mu kkooti buli lwe balagirwa.
Omulamuzi Ereemye yakkiriziganyiza ne Nyombi n'agamba nti tasobola kusazaamu kweyimirirwa kwabwe kubanga tebalina mateeka gebamenye era nalagira bakomewo mu kkooti nga February 19,2018
Gashumba avunaanibwa okweyita ky'atali nga kigambibwa nga September 12, 2017 ku Tulip Hotel Kafu Road y'alina ekigendererwa ky'okubba bayinvesita okuva e Holland [Kolgvan Dirutop ne Manu Meerscghman] n'abalimba nti ye Col. Francis Okello Director w’ebikozesebwa mu minisitule y’oby’okwerinda.
kigambibwa nti yasangibwa ne ndaga muntu za minisitule y’ebyokwerinda eya Uganda ne South Sudan era n'asangibwa n’ebiragalagala.
Avunaanibwa n’ogwokwekobaana ne muganda we Innocent Kasumba ne Ismail Kiyingi ne balimba bayinvesita okubafunira kontulakiti y’okuleetera minisitule y’okwerinda emmotoka ezikozesebwa mu ntalo, ttanka z’amazzi nga kino bakikola okugezaako okubba ssente.