TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 17 basimttuse okufiira mu kabenje e Wattuba ku lw'e Bbombo

17 basimttuse okufiira mu kabenje e Wattuba ku lw'e Bbombo

Added 22nd January 2018

17 basimttuse okufiira mu kabenje e Wattuba ku lw'e Bbombo

 Abamu ku basimattuse okufiira mu kabenje nga bapooca n'ebiwundu

Abamu ku basimattuse okufiira mu kabenje nga bapooca n'ebiwundu

Bya WASSWA B. SSENTONGO

ABANTU 16 balumiziddwa mu kabenje akaagudde e Wattuba ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu emmotoka ya UPDF bw’eremeredde omugoba waayo n’eyingirira takisi ebadde edda e Luweero.

Emmotoka eno ebadde ya Brig. Muzoora nnamba H4DF 1641 nga ddeereva, we, Sgt Alfred Kalule yabadde avuga adda Kampala sso nga takisi gye yatomedde nnamba UAP 351C yabadde edda Luweero ng’etisse abantu 16, bonna abaalumiziddwa.

Akabenje kaagudde mu kkoona kyokka abatuuze baayanguye okudduukirira n’okutaasa abaakoseddwa.

Abaalumiziddwa abasinga baabadde baaluganda nga mwabaddemu n’abaana abato. Mu bano kuliko; Jamadah Namwasi 25, Aminah Namwasa 30 ne Pharidah ow’emyaka 3, nga bano ba mu nnyumba emu nga batuuze b’e Katalemwa mu Ggombolola y’e Nangabo mu Wakiso.

Baabadde bava kusaba e Maganjo. Abalala kuliko; Shaban Sentongo ow’emyaka 3, Alice Nanyongo 56, Benah Katushabe 20 nabo nga baaluganda nga baabadde bagenda kulaba ku muganda waabwe Shakibu Sentongo abeera e Matugga.

Abaakoseddwa abalala ye ddereeva wa takisi, Ashraf Kato ne kondakita we, Andrew Watu. Bano baddusiddwa e Mulago nga bataawa.

Amagye olwategedde nti emmotoka ebadde mu kabenje yaabwe, baayanguye ne baggyako ennamba yaayo ne batemamu ddereeva kyokka ng’omukono gwakutuse.

Asp Brigthon Steven Kirya (atwala poliisi y’e Matugga) yagambye nti baandise okunoonyerezza ku kabenje kyokka asaba abavuga ebidduka okuba abeegendereza naddala obutamala gayisizza mu makoona.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...