TOP

'Olaba Kitatta ky'atukoze'

Added 23rd January 2018

OKUKWATA Abdallah Kitatta kiddiridde abantu abawera okuli n'aba bodaboda ab'enjawulo okuvaayo ne bamulumi­riza eri minisita w'ensonga z'Obutebenkevu mu ggwanga, Henry Tumukunde ne bamulaga ebikolobero by'abatuusizzaako.

 Aba bodaboda nga balaga Tumukunde (ku kkono) ebisago.

Aba bodaboda nga balaga Tumukunde (ku kkono) ebisago.

Bya MOSES KIGONGO, HERBERT MUSOKE ne MARTIN KIZZA

OKUKWATA Abdallah Kitatta kiddiridde abantu abawera okuli n'aba bodaboda ab'enjawulo okuvaayo ne bamulumi­riza eri minisita w'ensonga z'Obutebenkevu mu ggwanga, Henry Tumukunde ne bamulaga ebikolobero by'abatuusizzaako.

Embeera bwe yasajjuse ennyo kye kyawalirizza minis­ita w'ensonga z’obutebenkevu bw'eggwanga Henry Tumukunde okuwa ekiragiro ekikwata aba 2010 mu bikwekweto eby­atandise ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.

Nga August 2, 2016, ekib­inja ky’abakungu ba Gavu­menti ekyakulemberwa minisita Tumukunde ne ba minisita ba Kampala okwali; Beti Kamya ne Benny Namugwanya baayita ebibiina by’abavuzi ba bodaboda mu Kampala be baasisinkana ku ofiisi za Pulezidenti eziri okumpi ne Palamenti.

Mohammad Kasujja, ssentebe wa Century Bodaboda Riders awamu n’omwogezi waabwe Pe­ter Kankaka be baakulemberamu bannaabwe abaalombojja ennaku aba 2010 gye babatu­usizzaako.

Aba bodaboda nga balaga Tumukunde (ku kkono) ebisago.

 

Baalumi­riza ekibiina kya Boda­boda 2010 ne bagamba nti baali beenyigidde mu ku­batulugun­ya n’okutta abavuzi ba boda­boda mu Kampala ne bitundu ebirala.

Sadat Katabira omu ku bavuzi ba boda okuva mu Century yal­aga embale n’ebisago ebyali ku ngalo n’omugongo bye yalumiriza nti byali bimutuusiddwaako basajja ba Kitatta mu kibiina kya Boda­boda 2010.

Ono yeegattibwako banne ab­alala abaalaga ebisago n’enkovu ez’amanyi mu mugongo ne mu mbiriizi ekintu ekyesisiwaza ba minisita ne baggyayo obutabo bwabwe ne bawandika bye baa­li balabye wakati mu kwewuu­nya n’okunyenya emitwe.

Abalala okwali Kasujja ne Kankaka baalombojjera ba minisita ennaku gye baali bay­itamu olw’okutulugunyizibwa kw’ekibinja kya boda 2010 era ne basaba abakungu bano okubeerako kye bakolawo.

Bano baategeeza nti baali bagezezaako okwekubira enduu­lu ku poliisi ezenjawulo kyokka nga tebafuna kuyambibwa era nga baali bawulira nti abamu ku bakulembeze ba Bodaboda 2010 baali bakolagana n’abanene mu kitongole kya poliisi.

 

TUMUKUNDE BYAMUKUBA WALA

Embeera y'ennaku n’okutulugunyizibwa okususse yeewuunyisa Tumukunde n’abuuza nti;

Kye mugamba ebyo byonna bibadde bigenda mu maaso nga musirise era nga mulinga abalowooza nti mu ggwanga lino temukyalimu gavumenti?’

Yayongera okutabuka n’akunya abaserikale ba poli­isi okwali Jeff Ssebuyungo ne Kituuma Rushoke abakulira ebik­wekweto bya poliisi mu kitongole kya KCCA ng’ayagala bamun­nyonnyole ensonga lwaki ebyali bimulooperwa aba Century byali bigenda mu maaso nga tebalina kye bakolawo.

Bano baasanga obuzibu oku­muwa okunnyonnyola okutuufu era wakati mu kukaluubirizibwa basaba aba Century okubatwalira obujjulizi ku bantu bonna be baali balumiriza okubeera ema­bega w’ebikolobero by’okuyiwa omusaayi gw’abavuzi ba Boda­boda gye bali babavunaane.

Oluvannyuma abakungu bano (aba Gavumenti) baasisinkana n’aba Bodaboda 2010 kyokka nga baatandikira mu kubabuuza lwaki Kitatta ne banne ab’oku ntikko baali tebalabiseeko mu nsisinkano eno.

Ensisinkano yagenda mu maaso nga Tumukunde abuuza basajja ba Kitata kajojijoji w’ebibuuzo ku byali bibooger­wako kyokka ng’ebimu bibalema okwanukula obulungi.

Tumukunde yasuubiza nga bw'ajja okugenda mu maaso anoonyereza ku byali byogerwa era nga bwanaasanga nga bituufu bisalirwe amagezi.

Okuva olwo abantu abawerako bazze bawa obujulizi ku poliisi nga balumiriza okubatulugunya. Abamu babadde bafuna omukisa ne batuukirira Tumukunde butereevu.

Emirundi mingi ensonga za Bodaboda 2010 zizze zituuka mu Palamenti naddala ensonga z’okukuba abayizi be ssomero abaakubwa e Busega bwe baali bagenda mu ku mukolo nga beesibye obutambaala obumyufu ku mitwe.

Wiiki ewedde, omubaka wa Palamenti owa Butambala, Muwanga Kivumbi yatabukidde Kale Kayihura ng’ali mu kakiiko k'ebyokwerinda n’amusaba annyonnyole Kitatta ne banne aba Bodaboda 2010 gye bajja obuyinza kuba basusse ate nga teri abakuba ku mukono.

Davis Byamukama olunaku lw'eggulo yakedde ku poliisi y'e Nateete n’aloopa aba Bodaboda 2010 abaamutulugunya n’afuna obulemu obutalimuvaako.

Byamukama ng'alaga omukono ogwatemebwako ekibatu.

 

Yategeezezza nti yagwa mu ba Bodaboda mu 2010 ne bamukuba bubi ne batu­uka n’okumutemako ekibatu ky’omukono ne kigwa wali. Baali bamulanga butabeera na kaadi ya kibiina kyabwe.

Baamukuba ne balowooza nti bamusse kuba yali takyavaamu kigambo nga bagenderera okubuza obujulizi. Oluvannyuma abadduukirize baamuyoolawo ne bamutwala mu ddwaaliro e Mulago.

Mu kiseera kino yafuna obul­emu nga takyalina kye yeekolera nga mu kiseera kino abeera ne muganda we e Buloba amula­birira.

BANZIBAKO PIKIPIKI MU LUKUJJUKUJJU

Geoffrey Kazigaba, avuga bodaboda ku siteegi ya Nsam­bya- Furniture ku Ggaba Road, agamba nti yatandika okuvuga boda boda mu 2014.

Ku nkomerero y’omwaka oguwedde, waliwo abapoliisi be yali atera okulaba abaamusaba okubatwalako nga

 bali mu ngoye za bulijjo ne bamusaba abatwale

 e Kisugu wabula olwabatuusa nga ku Housing Finance ne bamulagira okuva ku pikipiki era ne bamutwala ku poliisi gye yaggalirwa okumala ennaku bbiri.

Ku poliisi baleeta omusajja Simon Occuli eyategeeza nti namubbako pikipiki ye e Kiruddu. Oluvannyuma baamutwala e Katwe kyokka ng’aba Boda boda 2010 be bamuvuga mu mmotoka yaabwe.

Annyumya nti, “Bantwala mu kkooti era oluvannyuma omulamuzi yansingisa omu­sango n’antegeeza nti nalina okusalawo okusasula eng’assi oba okusibwa.

Nakki­riza okusasula engassi ya 200,000/- ne ndowooza nti omusango guwedde wabula oluvannyuma lw’akaseera ate omusajja y’omu yadda n’abaserikale okuva ku ka­poliisi ka Katuba ne bankwata.”

Okusooka yali alowooza nti biwedde, kyokka oluvannyuma abasajja be bamu bamukwata ne bamutwala ku ofiisi za Bodaboda 2010.

Bwe baamuzza mu kkooti omulamuzi yamusalira obukadde buna. Olwokuba yali talina ssente yamaliriza abawaddemu pikipiki ye emu.

Okuva olwo yadda ku zero, wadde nga yali awezezza pikipiki nnya, naye zonna yazitunda mu musango guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...