TOP

Omuyimbi Moze Radio ali mu koma!

Added 23rd January 2018

Omuyimbi wa Goodlyfe, Moses Ssekibogo amanyiddwa nga Mowzey Radio ali bubi! Aweereddwa ekitanda ku Case Hospital mu Kampala mu kasenge omujjanjabirwa abayi nga biwalattaka.

 Moze ng'ayimba mu kivvulu ekimu gye buvuddeko. EKIF: MOSES NSUBUGA

Moze ng'ayimba mu kivvulu ekimu gye buvuddeko. EKIF: MOSES NSUBUGA

Kino kiddiridde Moze okulwana n'omu ku bakanyama b'ebbaala ebbaala ya Freedom Beach e Ntebe ku Mmande era wakati mu kuwuuba enguumi amuddize yalemereddwa okuyimirira obulungi ku ttaka n'akubawo omutwe wansi!

Wabula kigambibwa nti Moze ye yatandise olutalo bwe yafuse omwenge ku badigize n'okubavuma , kanyama olwamugambyeko n'amukuba ebikonde naye kwe kuva mu mbeera n'amukuba eng'uumi eyamusudde ku ttaka n'akubawo omutwe, ne bamuggyawo nga tamanyi biri ku nsi.

Omu ku mikwano gya Moze abamuli ku lusegere ategeezezza nti okuva eggulo ali mu kkoma tamanyi biri ku nsi!

Wabula obubaka obuli peegi ne Radio ne Weasal eya Facebook bagumizza abawagizi baabwe nti Radio kati ali bulungi, takyali mu koma nga amawulire bwe gabadde gasaasaanira ku mikutu gya yintaneti egyenjawulo, akyafuna obujjanjabi obw'ekikugu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...