
BUKEDDE W’OLWOKUSATU ALIMU EBIKULU BINO
Ebya Kitatta ne basajja be byongedde okutabuka, aba bodaboda bwe balaze emisango 600 gye babalinako ne balumiriza poliisi okugituulako.
Mulimu ebiri mu ddwaaliro gye baatutte omuyimbi wa Goodlyfe, Moze Radio oluvannyuma lw’okumukuba n’ayabika omutwe era abasawo baakamulongoosa emirundi 2.
Ebyokulwanyisa ebikuluumululwa Putin owa Russia ng’abitwala mu Syria okubigezesa kweraliikirizza Bungereza n’erabula Amerika basitukiremu.
Mu Ono ye Kampala: Tukulaze engeri gy’ofuna ssente z’entandikwa eziri mu buwumbi mu KCCA okweggya mu bwavu. Byonna mu Bukedde w’Olwokusatu.
Mu Byemizannyo:Arsene Wenger awaanye Henrik Mkhitaryan gwe yaguze mu ManU n’ababula Chelsea gye baddingana nayo mu gwa Carabao Cup leero ku Lwokusatu okwenyweza.