TOP

Museveni asabye ababaka bave ku kulwanira ebifo

Added 24th January 2018

Olw’okuba ng'abakulembeze ba Africa balemeddwa okukola ku byokwerinda byabwe, kibaleetedde okusigala emabega. Kwe kusiima Pulezidenti wa Amerika, Donald Trump gwe yagambye nti, kino azze akiraga era y'ensonga lwaki amwagala nnyo.

 Museveni n'abamu ku babaka ba Palamenti y'obuvanjuba bwa Afrika

Museveni n'abamu ku babaka ba Palamenti y'obuvanjuba bwa Afrika

Bya Kizito Musoke

PULEZIDENTI Museveni asabye ababaka ba Palamenti y'Obuvanjuba bwa Afrika okukomya okulwaniranga ebifo, wabula essira balisse mu kulowooleza enkulaakulana y'ekitundu.

Yasinzidde mu Palamenti mu kuggulawo olutuula lwa Palamenti yObuvanjuba bwa Afrika eggulo, n’akubiriza ababaka okukomya entalo z’azze awulira nga balwanira Obwasipiika kuba si kye kizibu ky'amawanga ge bakiikirira.

Mu lutuula olwatudde mu kizimbe kya Palamenti ya Uganda olwakubiriziddwa Sipiika Martin Ngoga (okuva e Rwanda), Museveni yategeezezza nti;

‘Nasemba okuwulira nga muli mu kulwanira Obwasipiika, ate ng’abantu be mukiikirira ekizibu kyabwe baagala butale bw'ebintu bye bakola.

Amaanyi ago mugateeke mu kulwanirira ebyobugagga eby'ensibo ng’ennyanja lwe tujja okuganyulwa."

Obwetaavu bw’okugatta akatale k'amawanga gano Pulezidenti yakyogeddeko ng’ekikulu n’ategeeza nti, kino kye kijja okukuuma amawanga gano nga ga muwendo okusinga okwetunuulira ssekinnoomu.

Ebyokwerinda by'amawanga agali mu mukago okuli; Uganda, Kenya, Tanzania, Burundi, Rwanda ne South Sudan yasabye birowoozebweko nnyo. Yategeezezza nti, singa amawanga gaali geegatta dda ebizibu ng’ekittabantu ekyali e Rwanda mu 1994 tekyandibaddewo.

Yagasseeko nti n’abakulembeze nga Idd Amin tebandisobodde kukulembera Uganda, singa amawanga gano gaali gagattiddwa mu 1963 ng’ekirooto kya Milton Obote (Uganda) Jomo Kenyatta (Kenya) ne Julius Nyerere (Tanzania) bwe kyali.

Olw’okuba ng'abakulembeze ba Africa balemeddwa okukola ku byokwerinda byabwe, kibaleetedde okusigala emabega. Kwe kusiima Pulezidenti wa Amerika, Donald Trump gwe yagambye nti, kino azze akiraga era y'ensonga lwaki amwagala nnyo.

“Amerika yafuna Pulezidenti akyasinze era nze njagala nnyo Trump kuba omuntu amubuulira kaati kyamumanyiiko. Omuntu akugamba nti, oli munafu nga kye kituufu lwaki mbeera simwagala?” Museveni bwe yategeezezza.

Okukuuma obutonde bw'ensi ng'ennyanja yasabye buli ggwanga okukitwala nga kikulu naddala ebyo ebigabanyizibwa amawanga ag'enjawulo.

Museveni yawadde ekyokulabirako nti Uganda singa ekozesa obubi ennyanja Nalubaale kijja kukosa amawanga nga Tanzania ne Kenya agagikozesa.

Ababaka ba Palamenti bano baasiimye Museveni era nga ye ssentebe w’omukago gw'amawanga gano olw’okulwanirira emirembe mu kitundu kyonna, okutumbula embeera z'abakyala n’okukulaakulanya Uganda.

Olutuula luno lwetabyemu ababaka okuva mu mawanga mukaaga ageegattira mu mukago, Sipiika Rebecca Kadaga n’abaaliko ababaka ba Palamenti eno okuva mu Uganda.

Palamenti y'amawanga g’obuvanjuba bwa AfriKa eyaguddwaawo eggulo yaakutuula okutuusa nga February 3, 2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...

Trump asimattuse omukazi ey...

AB'EGYE erikuuma Pulezidenti wa Amerika singa tebaatebuse mukazi eyabadde ateze Pulezidenti Donald Trump obutwa...

Kazimba ng’agenze okulambula e Makerere.

Ofiisa wa poliisi akwatiddw...

OFIISI wa poliisi n’omukuumi w’ekitongole ky’obwannannyini bakwatiddwa ku by’omuliro gw’e Makerere.

Chameleone (ku ddyo) yali ne Bobi Wine.

Chameleone yeekokkola aba B...

ABASUNSULA akamyufu mu kibiina kya NUP ekya Bobi Wine basudde Jose Chameleone okwesimbawo ku kya Loodi Meeya wa...