
Abaserikale nga bali ku kayumba Egesa mwe yettidde. Nandudu yatiddwa mu katono
BYA PATRICK TUMWESIGYE NE MARY NANTAMBI
OMUSERIKALE wa securiko abadde akuuma ku kkampuni ya Uganda Clays e Kajjansi afunye obutakkaanya ne muganzi we bwe bakola n’amukuba amasasi agamuttiddewo oluvannyuma naye ne yetta.
Bino byabaddewo ssaawa 2:30 ez’oku makya eggulo ku kkampani ya Uganda Clays okuliraana ne poliisi y’e Kajjansi. Simon Egesa owa kkampuni ya securiko eya Ultimate Security yasoose kukuba muganzi we, Suzan Nandudu gw’abadde akola naye mu kkampuni y’emu ng’era bakolera wamu, oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya.
Joseph Karuhanga omuvuzi wa bodaboda ategeezezza nti yabadde avuga n’alaba ng’abaserikale bano bayomba ku kayumba kaabwe omukazi n’asalawo yeetegule omusajja kyokka yabadde yaakaddukako mita nga 10 omusajja n’amuvaako emabega n’amukuba amasasi mu mugongo n’agwa wansi amangu ago omusajja naye n’ayingira mu kayumba ne yeekuba essasi.
“Naye lwaki ompaayirizanga ebintu ebitaliimu buli kiseera,” Ebyo bye bigambo Karuhanga bye yawulidde nga Nandudu abigamba muganzi we nga tannamukuba masasi agaamuttiddewo.
Kino kyaleetedde Karuhanga okuteebereza nti osanga Egesa abadde ateebereza Nandudu okuba ng’apepeya n’omusajja omulala nga kye kyamuviiriddeko okumutta. Omu ku babadde bakola n’abagenzi ataayagadde kumwatula mannya ge yategeezezza nti Egesa ne Nandudu babadde baagalana era nga basula bonna e Kitende wabula tebategedde nsonga yabavi- Owa securiko asse muganzi we naye ne yetta iriddeko kutabuka.
Kyategeerekese nti Nandudu ye yavudde ku kayumba bakamaabe we baamulagira okukuuma n’agenda ewa Egesa era gye yamuttidde. Kiteeberezebwa okuba nga Nandudu yabadde agenze ewa muganzi we okumwetondera n’okumunnyonnyola ekituufu.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire akakasizza obutemu buno n’ategeeza nti poliisi eri mu kunoonyereza okuzuula ekyavuddeko Egesa okutta Nandudu naye ne yetta.