TOP

Babavunaana kwonoona bintu bya Bodaboda 2010

Added 25th January 2018

ABA bodaboda abagambibwa okwoca ebintu mu ofiisi za Bodaboda 2010 bavunaaniddwa emisango okuli okwonoona ebintu, obwakireereese, okusaalimbira mu kifo ekitali kyabwe n’ekigendererwa eky’okutiisatiisa nnyini kyo.

 Lubega (ku ddyo) eyeeyita ‘Kiwi’ ne munne ku mpingu mu kkooti e Mengo eggulo.

Lubega (ku ddyo) eyeeyita ‘Kiwi’ ne munne ku mpingu mu kkooti e Mengo eggulo.

Bya Joseph Makumbi

ABA bodaboda abagambibwa okwoca ebintu mu ofiisi za Bodaboda 2010 bavunaaniddwa emisango okuli okwonoona ebintu, obwakireereese, okusaalimbira mu kifo ekitali kyabwe n’ekigendererwa eky’okutiisatiisa nnyini kyo.

Abaavunaaniddwa kuliko; Patrick Wamala, Hamza Kiggundu, Saul Katongole, John Bosco Ssebuufu, Luyombya, Mubiru, John Bosco Yiga ne Sulia Lubega eyeeyita Kiwi.

Baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Allan Nyakaana owa kkooti y’e Mengo eyabaddewo ku lwa munne Esther Nyadoi era omusango n’agwongezaayo okutuusa nga January 31, 2018 omulamuzi akola ku musango gwabwe lw’anaabeerawo.

Baasabye okweyimirirwa kubanga emisango egibavunaanibwa tebagimanyi kyokka ne bategeezebwa nti okusaba kuno bajja kukukola ng’omulamuzi Nyadoi waali.

Aba bodaboda bwe baawulira nga Kitatta ne banne bakwatiddwa, ne basalawo okwesasuliza ku bintu bya Bodaboda 2010 n’okwokya ofiisi zaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...