TOP

Abasawo bye bazudde ku muyimbi Moze

Added 25th January 2018

Moze ng’amannya ge amatuufu ye Moses Nakintije Ssekibogo yaweereddwa ekitanda mu ddwaaliro lya Case Hospital ng’ali mu mbeera mbi oluvannyuma lw’okumukubira mu bbaala ya De Bar e Ntebe ku Mmande ekiro ekyavuddeko n’okukwatibwa kwa nnannyini bbaala eno, George Egesa era n’okutuusa kati Moze akyakuumirwa mu kasenge k’abalwadde abayi ng’akyassiza ku byuma.

 Moze Radio

Moze Radio

Bya MARTIN NDIJJO NE  GODFREY SSEMPIJJA 

LIPOOTA y’abasawo ku muyimbi  wa Goodlyfe, Moze Radio  eraze nti avudde awabi aweeraliikiriza. 

Abawagizi ba Moze bangi  emitima gibadde gikyabeewanise  olw’embeera gy’alimu olw’okuba  tannaba kutegeera biri ku nsi  ate abalala bebuuza kimu, oba  anaasobola okuddamu okutereera  obulungi. 

Balaam Barugahara, omu  ku bakulembeddemu enteekateeka  z’okujjanjaba omulwadde,  eggulo yategeezezza nti amawulire  amalungi ge bafunye okuva  mu basawo ke kawanga ka  Moze okuba nti tekaakoseddwa  wadde ng’omusaayi gwatonnye  ku bwongo. 

Moze bwe yabadde yaakatuusibwa mu ddwaaliro okulongoosebwa

 

“Ekyabadde kisinze okutweraliikiriza  ke kawanga  naye abasawo oluvannyuma  lw’okumwekebejja emirundi  egy’enjawulo batugambye nti  tekalina buzibu bwa maanyi ate  ku ky’omusaayi ogwatonnye ku  bwongo baamusaze ne bamu longoosa ekiresewo enjawulo  wadde ng’omulwadde tannaba  kubeera bulungi.

Tuli bagumu  olw’abasawo abakungu  abamukolako,” Balaam bwe  yannyonnyodde. 

 

Moze ng’amannya ge  amatuufu ye Moses Nakintije Ssekibogo yaweereddwa  ekitanda mu ddwaaliro  lya Case Hospital ng’ali  mu mbeera mbi oluvannyuma  lw’okumukubira mu  bbaala ya De Bar e Ntebe ku  Mmande ekiro ekyavuddeko  n’okukwatibwa kwa nnannyini  bbaala eno, George  Egesa era n’okutuusa kati  Moze akyakuumirwa mu  kasenge k’abalwadde abayi  ng’akyassiza ku byuma. Jane Kasubo, maama wa Moze eyasangiddwa ku  ddwaaliro nga mwennyamivu  olw’ebyatuuse ku mutabani  we yagambye nti afunye ku  buweerero olw’amawuulire  g’abasawo kyokka yasabye  abantu okwongera okusambira  mutabani we adde bulungi  engulu. 

BANOONYA SSENTE ZA BUJJANJABI 

Ng’abasawo balwana bwezizingirire  okutaasa obulamu bwa  Moze, aba famire basobeddwa  olwa ssente ennyingi ezeetagisa  okumujjanjaba.  Balaam, omu ku bakola ku  by’okumujjanjaba yategeezezza  nti we bwakeeredde eggulo ku  Lwokubiri nga baakasaasaanya  obukadde 15 era ssente ezimu  zaawereddwaayo mikwano gya  Moze. 

Yagambye nti okusinziira ku  mbeera gy’alimu n’obujjanjabi  bw’alina okufuna okutereera,  kibeetaagisa ssente eziri mu doola  emitwalo ebiri (mu za Uganda  obukadde 73) n’asaba abawagizi  ne mikwano gya Moze okuvaayo  bamudduukire ng’obuyambi  babuwa maama we, Balaam oba  omu ku bamaneja okuli Emma  Mulondo oba Chagga. 

Musiimire

 

BATEEKATEEKA KUMUTWALA BWERU  

Mu kaweefube gwe baliko  okulaba nga Moze awona mangu,  waliwo abawadde abafamire  amagezi okumutwala ebweru  afune obujjanjabi obusingako.

  Kino Balaam yakikakasizza  n’agamba balowooza ku kya  kumutwala Nairobi mu ddwaaliro  lya Aga Khan okwongera okumwekebejja.

  Eyabadde ne Moze mu bbaala annyonnyodde     

PAMELLA Musiimire omu ku bavunaanyizibwa  ku by’okwerinda ku bbaala  ya De Bar agamba nti Moze mukwano  gwe era yafuuka nkola buli Moze  lw’agenda mu bitundu by’e Ntebe okumunoonya  wali amubuuzeko. 

“Ku Mmande yankubidde essimu  ng’ajja n’ambuuza wendi kwe kumuddamu  nti ndi ku bbaala ko ye nti nzija.  Bwe yatuuse twatudde n’abantu abalala  ne tudda mu mboozi kyokka Moze  oluvannyuma lw’okutamiira yatandise  okusosonkereza Egesa nti talina na busobozi  bumugulira mwenge ate olwagumuwadde  yazze mu kukola ffujjo n’aguyiira  abantu wano we bamufulumirizza ku  kifuba ne bamukuba wansi. 

Eggulo Pamella yayitiddwa ku poliisi  y’e Ntebe naye okubaako by’abuuzibwa  ku kunoonyereza ku by’omusango  ogwaguddwaawo abantu ba Moze  ogw’okugezako okutta omuntu ate Egesa  nnannyini bbaala naye akyakuumirwa  mu kaduukulu ka poliisi nga bwe bayigga  kanyama eyakubye Moze n’adduka.   

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...