TOP

Bakoze pulaani okutaasa Kitatta

Added 26th January 2018

Ku nkomerero kyasaliddwa nti wadde nga Kitatta mukulembeze wa NRM, kyokka okusinziira ku by’ogerwa ku kibiina kyakulembera ekya Bodaboda2010 n’ebikolobero bye bazze batuusa ku bantu basaanye obutayingirira kunoonyereza okukolebwa amagye mu kiseera kino.

 Kitatta

Kitatta

Bya BASASI BAFFE

ABAWAGIZI ba Abdallah Kitatta okuli abakulembeze ba NRM, aba bodaboda ne takisi kw’ossa abakulembeze b’Obusiraamu baluse pulaani okumuggya mu kkomera.

Baasoose kusisinkana bakulembeze okuli baminisita n’abakulu mu NRM era ne bakkaanya okubakolera enteekateeka esisinkana Pulezidenti Museveni bamusabe okulagira Kitatta ayimbulwe.

Omuziziko ogukyaliwo guli gumu gwokka – Pulezidenti tannaba kulaga oba mwetegefu okubasisinkana oba takyetaaga.

Mustapha Mayambala akulira ekiwayi kya takisi ekya UTRADA nga muno Kitatta y’abadde omuyima yagambye nti balindirira mukisa kusisinkana Pulezidenti bamuyitiremu ku bukulu bw’okuyimbula Kitatta era balina essuubi nti waakubawuliriza.

OKUKWATIBWA KWA KITATTA KUTUUSE MU KABINETI

Ensonga y’okukwatibwa kwa Kitatta ne banne abasukka mu 40 aba Bodaboda 2010 zaatuuse ne mu lukiiko lwa Baminisita (Kabineti) olwatudde ku Mmande.

Baminisita abaaleese ensonga eno baabadde baagala okumanya ekigenda mu maaso ku nsonga za Kitatta era ng’abamu balina n’endowooza nti bwe waba tewali musango gwa maanyi, yandibadde ayimbulwa kubanga abadde alina emirimu gy’akola egiyamba abantu ba wansi wamu n’ekibiina kya NRM kw’ossa n’abeebyokwerinda naddala poliisi era nti ne banokolayo eky’okuyambako mu kukkakkanya obucankalano bw’abooludda oluvuganya gavumenti mu kibuga.

Ensonda zaategeezezza nti waabaddewo okukubaganya ebirowoozo nga Baminisita abasinga bagamba nti baleke okunoonyereza kugende mu maaso era amateeka gagobererwe; bw’anaaba alina omusango avunaanibwe ate bwe gunaaba teguliiwo ayimbulwe.

Ku nkomerero kyasaliddwa nti wadde nga Kitatta mukulembeze wa NRM, kyokka okusinziira ku by’ogerwa ku kibiina kyakulembera ekya Bodaboda2010 n’ebikolobero bye bazze batuusa ku bantu basaanye obutayingirira kunoonyereza okukolebwa amagye mu kiseera kino.

 

ABA NRM E LUBAGA BALWANA KUMUTAASA

Abakulembeze ba NRM mu Lubaga nabo baatuuzizza olukiiko ku Lwokusatu ku kitebe ky’ekibiina e Lubaga olwakubiriziddwa Justine Namakula Buchana. Kitatta amyukibwa Buchana ku bwa Ssentebe bwa NRM.

Abaabadde mu lukiiko baalaze okulumwa olw’okuba ng’omuntu waabwe bukya akwatibwa ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde tebabakkiriza kutuuka gy’akuumirwa wadde bandyagadde okumulabako n’okumanyira ddala emisango egimuvunaanibwa.

Baawunzise basembye kya kusisinkana Pulezidenti. Wabula abamu ku baabadde mu lukiiko baalaze okutya nti kiyinza obutasoboka okusisinkana Pulezidenti ate abalala ne bagamba nti n’okumusisinkana nga baling abawolereza Kitatta gwe batakakasa oba alina emisango oba talina, nakyo kiyinza okubateeka mu kaseera akazibu ng’abakulembeze kubanga tebamanyi bujulizi magye bwe gamulinako.

Amyuka RCC wa Lubaga, Deborah Mbabazi yabawabudde nga bwe batalina kye bayinza kukola mu kiseera kino okutuusa ng’okunoonyereza ku musango kuwedde. Yabagambye nti fayiro ekwata ku misango egyakwasa Kitatta yabadde ekyali mu mikono gy’amagye, nga kyetaagisa okusooka okukomawo ku poliisi nga bamaze okulaga emisango gye bavunaana buli muntu okunoonyereza kulyoke kutandikire awo.

Waliwo ekibinja kya ba NRM ekyesitudde ku Lwokubiri ne kigenda ku kitebe kya NRM ku Kyaddondo Road, kyokka tebaafunye buyambi era ne bategeezebwa nti ensonga zino zaabadde zibazitooweredde okuziyingiramu.

Bakoze pulaani okuyimbula Kitatta Bino byakkaatiriziddwa n’ebbaluwa Justine Kasule Lumumba, Ssaabawandiisi wa NRM gye yafulumizza ku Lwokusatu eyategeezezza nti okukwatibwa kwa Kitatta tekirina kakwate na kibiina kya NRM era bagenda kuleka amateeka gakole omulimu gwago.

Omu ku bakulembeze ba NRM e Lubaga ataayagadde kumwatuukiriza mannya yagambye nti ebbaluwa ya Lumumba teyabayisizza bulungi. Mayambala yagambye nti bakola buli ekisoboka okulaba ng’omuntu waabwe ayimbulwa.

Yagambye nti Kitatta okukwatibwa baamusanga mu lukiiko lwe yali atuuzizza ng’omuyima wa Bodaboda 2010 okusala entotto ku kya bammemba ba Bodaboda 2010 abaali bakwatiddwa.

Yagasseeko nti: Ng’omukulembeze yali tayinza kutunula butunuzi ng’abantu bakwatibwa ate nga tewali nsonga ennyonnyolwa.

Mu lukiiko mwe baamukwatira baali basazeewo okuwa ebitongole ebikuumaddembe ennaku bbiri nga bannyonnyodde ekikwasa abantu baabwe bwe kitaba ekyo bategeke okwekalakaasa.

Kyokka abavuzi ba aodaboda abawakanya Bodaboda 2010 bali mu kutya nga bagamba nti Poliisi eyinza okubakwata n’ebamalawo nga yeerimbika mu by’okubavunaana okwokya ofiisi za Bodaboda 2010 mu bitundu ebyenjawulo.

Omu ku bakulembeze yagambye nti beewuunyizza nnyo obwangu obwakozeseddwa Poliisi mu kutwala mu kkooti abavubuka abaakwatibwa ku by’okwokya ofiisi za Bodaboda 2010.

Mu kiseera bategeka zisisinkana minisita w’obutebenkevu bw’eggwanga Henry Tumukunde bamulage obunkenke bwe balimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...