TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni alabudde abavubuka ku mize egibalemesa enkulaakulana

Museveni alabudde abavubuka ku mize egibalemesa enkulaakulana

Added 26th January 2018

Museveni alabudde abavubuka ku mize egibalemesa enkulaakulana

 Museveni ng'ali ku mikolo gy'ameenunula egikuziddwa mu Arua

Museveni ng'ali ku mikolo gy'ameenunula egikuziddwa mu Arua

PULEZIDENTI Museveni alabudde abavubuka okwewala obwenzi n’ettaamiiro  ng’agamba nti okukikola bajja kuba  beesembereza ntaana kibalemese n’okufuna mu pulojekiti z’okwekulaakulanya gavumenti z’ebatandikirawo.

Museveni era alabudde abavuzi b’ebidduka naddala aba takisi ne bodaboda okukomya okuvuga endiima ng’agamba nti obubenje obuva mu kino bujja kukosa enfuna y’eggwang. Kwe kulagira poliisi okusitukiramu okulwanyisa omuze guno.

Abadde ayogera ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’ameenenula ag'emirundi  32 olukuziddwa mu kibuga Arua mu West Nile leero (January 26). Ku lunaku luno mu 1986, abayekera ba NRA abaali baduumira Yoweri Museveni baawamba  gavumenti ya Gen. Tito Okello Lutwa oluvannyuma lw’okugirwanyisiza wamu n’eya  Milton Obote okumala emyaka ettaano.

Museveni yazigiridde Bannayuganda nti okwenyigira mu by’obulima n’okulunda ebintu eby’okutunda, okutandikawo amakkolero n’okugakolamu, okukola mu mirimu gy’obuwereza (service) bye bimu ku bijja okubaggaggawaza.

Era n’agamba nti gavumenti egenda kuyamba abavubuka abatalina ttaka kwenyigira mu by’obulimi  n’obulunzi ebayamba mu kussaawo obukolero obutono ng’obusa kasooli kibasobozese okufuna emirimu.

Asabye Bannayuganda okwewala  okusasaanya ensimbi ku bintu ebiva ebweru ng’engoye n’ebirala. N’agamba nti ebintu nga ttivi, engatto,essimu z’omungalo, mmottoka birina okutandika okukolerwa wano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amagye ne poliisi nga batangira abavubuka okukola effujjo.

Okulonda kw'abavubuka e Kay...

OKULONDA kw’abavubuka e Kayunga kuyiise omulundi ogw’okubiri oluvannyuma lw’enjuyi ezivuganya okulemwa okukkaanya...

Omusawo ng'akebera omukazi amannyo. Emabega ye Dr. Sseruyange ne Luswata.

Temulinda kulwala okugenda ...

Abatuuze b’e Nabbingo mu Kyengera Town Council bakubiriziddwa obutalinda kulwala okugenda mu ddwaaliro bajjumbire...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo mutabani wa Yiga

Paasita Bujjingo akungubagi...

Omusumba w'ekkanisa ya House of Prayer International Aloyzious Bujjingo agugumbudde abaavudeyo ne bogera amafukuule...

Yiga ne Nabbi Omukazi.

Nabbi omukazi ayogedde ebya...

MAGGIE Kayima, amanyiddwa nga ‘Nabbi Omukazi’ akungubagidde eyali bba ate mukama we, Pasita Augustine Yiga Abizzaayo...

 Pastor Yiga

Engeri gy'abadde abuuliramu...

OKUVA Pasita Yiga lwe yatandika ekkanisa ye eya Christian Revival Church e Kawaala, azze akola ebintu ebikontana...