TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bazudde ebikwata ku kanyama eyakubye Moze owa Goodlyfe

Bazudde ebikwata ku kanyama eyakubye Moze owa Goodlyfe

Added 29th January 2018

Omusajja Troy Wamala agambibwa okubeera kasitoma mu bbaala ya De-Bar e Ntebe, nga Radio gye yakubirwa gwe baakitaddeko kuba n’okuva olwo okutuusa essaawa ya leero abadde taddangamu kulabikako.

 Troy Wamala ne Moze Radio

Troy Wamala ne Moze Radio

Bya PONSIANO NSIMBI ne GODFREY SSEMPIJJA

OMUSAJJA agambibwa nti ye yakuba omuyimbi wa Goodlyfe Moze Radio (ng’amannya ge amatuufu ye Moses Nakintije Ssekibogo) n’amwasa omutwe bamuzudde.

Omusajja Troy Wamala agambibwa okubeera kasitoma mu bbaala ya De-Bar e Ntebe, nga Radio gye yakubirwa gwe baakitaddeko kuba n’okuva olwo okutuusa essaawa ya leero abadde taddangamu kulabikako.

Oluvannyuma lwa Radio okukubwa, poliisi yakwata George Egesa nnannyini bbaala n’omukozi we Xavier Rukera ne baggalirwa nga bagguddwaako emisango gy’okukuba n’okulumya omuntu ku fayiro SD:85/22/01/2018.

Wabula abantu baabwe baagala poliisi ebayimbule enoonye Wamala gwe bagamba nti ye yakuba Radio.

Radio yakubwa ku Mmande ya wiiki ewedde n’agenda mu kkoma kati ng’ajjanjabibwa mu ddwaaliro lya Case ku Buganda Road.

EMBEERA YA RADIO ERONGOOSE

Omu ku bamaneja be, Emma Carols Mulondo yagambye nti obutafaananako nga bwe gubadde, Radio kati atandise okussa yekka nga tali ku byuma n’okutegeera akatonotono ebiri ku nsi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...