TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaabasumba Lwanga yennyamidde ku buseeguobweyongedde

Ssaabasumba Lwanga yennyamidde ku buseeguobweyongedde

Added 29th January 2018

SSAABASUMBA Cyprian Kizito Lwanga asinzidde Namugongo n’alaga obwennyamivu olw’obuseegu obweyongedde mu bantu ku buli mutendera.

 Abakristu abeetabye mu kusaba nga batona. Owookubiri ku ddyo ye Saabasumba Lwanga.

Abakristu abeetabye mu kusaba nga batona. Owookubiri ku ddyo ye Saabasumba Lwanga.

Okwogera bino yabadde ayimba Mmisa eggalawo okusaba okwokwezza obuggya okwategekeddwa aba Charismatic Renewal ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo ku Ssande okumaze ennaku musanvu nga kuyinda mu kifo kino.

Agambye nti ennaku zino abantu engeri gye bakozesa ebikolwa by’okwegatta babikozesa kusanyusa mibiri gyabwe kyokka ne bawunzika nga bakoze bingi ebitasaana ekintu ekikontana n’ebyo Katonda by’ayagala, ekittattanye ekikula ky’abantu.

Yakikkaatirizza nti ekikolwa eky’okwegatta mu mukwano Katonda yakikola ng’ekirungo ekinyumisa obufumbo wakati mu baagalana naye ssi kikolwa kya kwesanyusa ng’omuntu olw’okuba okkirizza omubiri gwo okukufuga.

Yayongeddeko nti abantu bangi bagenda mu bikolwa eby’okwegatta n’ekigendererwa ky’okusanyusa obulamu bwabwe n’agamba nti naye ate olwo oba ovudde ku mulamwa era ng’okutte makubo malala.

Agambye nti Mukama yatuwa ebitundu by’ekyama okutuyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa nga tuyita mu nkola entuufu naye bangi babikozesa okwesanyusa bokka na bokka ate ne bawunzika nga balumizza abalala omuli abaagalwa baabwe, abaana ne Mukama yennyini n’alumwa kuba oba ovudde ku by’omwoyo ng’ogoberera mubiri gwo kye gubanja.

Avumiridde n’Abazungu n’agamba nti be basinga okuwanika ebikolwa eby’obuseegu ku mitimbagano nga bisensedde nnyo wano ku lukalu lw’Omuddugavu kyokka nga bw’otuuka ewaabwe kizibu okubiraba.

Naye wano abavubuka abalina amasimu ag’ebbeeyi n’abaana abatandise okutegeera babeera mu kwefulukuta ku masimu nga banoonya okulaba obutambi obw’obuseegu ekisinze okwonoona.

Yakuutidde abeetabye mu kusaba kuno bakimanye nti Charismatic kiwayi ekiri mu Bukatoliki era nga balina okukuuma ennono y’Obukatoliki mu buli kye bakola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengedo alayiziddwa ku...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...

Nabunya ne bba Sheikh Muzaata (mu katono).

Muka Muzaata ataddewo obukw...

MUKA Sheikh Nuhu Muzaata ataddewo obukwakkulizo okuddayo mu ddya. Kuluthum Nabunya yanoba kati emyazi esatu. Muzaata...

Abantu nga babuuza ku Amuriat.

Amuriat abuuzizza ku balonz...

PATRICK Oboi  Amuriat (POA) eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti owa FDC   ayolekera Kabale naye asoose  ku ssundiro...

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo  akulir...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...