TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Tewali bujulizi buluma Kitatta ku by'okutta owa Case Hospital - Poliisi

Tewali bujulizi buluma Kitatta ku by'okutta owa Case Hospital - Poliisi

Added 30th January 2018

KITATTA nga tannasimbibwa mu kkooti y’amagye e Mbuya, poliisi yasoose kutegeeza nti tewali bujulizi bwonna bumugatta ku musango gw’okutemula omukozi wa Case Hospital, Francis Ekalungar.

 Abattakisi abaakulembeddwa Mustafa Mayambala (owookubiri ku kkono) nga bali n’omwogezi wa NRM mu Wakiso Muwanga Lutaaya ku kkooti.

Abattakisi abaakulembeddwa Mustafa Mayambala (owookubiri ku kkono) nga bali n’omwogezi wa NRM mu Wakiso Muwanga Lutaaya ku kkooti.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Emilian Kayima yasinzidde mu lukuh− haana lwa bannamawulire olwatudde ku makya eggulo ku CPS mu Kampala n’agamba nti abantu munaana be bali ku fayiro eyo era kw’abo Abdallah Kitatta taliiko.

Mu kusooka fayiro yabaddeko abantu mukaaga wabula ne bagattako abantu abalala babiri ne bawera munaana.

Kayima yagambye nti abali ku fayiro kuliko Muzamiru Mawa, Resty Gorreti Nalunga, Huzairu Kiwalabye, Deo Iga, David Bizimani, Kikandi Rukundo ssaako n’abakuumi ba Case Hospital babiri Vincent Chandia ne Francis Mulema nga bavunaanibwa emisango ebiri okuli okutta wamu n’ogw’obubbi nga fayiro yaabwe yaweerezeddwa ew’omuwaabi wa gavumenti okugyekenneenya era bw’anakkaanya n’ebirimu, abo omunaana batwalibwe mu kkooti.

Kiwalabye muganda wa Kitatta era gwe baasooka okukwata ne balyoka bakima ne Kitatta.

Waasoose kubeerawo kusika muguwa wakati wa poliisi n’amagye ku fayiro ya Kitatta.

Amagye gaabadde gaagala Kitatta ateekebwe ku fayiro eyo nga galaga nti obujulizi weebuli kyokka nga poliisi erina okwongerayo fayiro ew’omuwaabi wa gavumenti eraga nti tewali bujulizi ku Kitatta era n’esalawo aleme kugattibwako.

Kayima yagambye nti omusango gwe bamanyi nga poliisi oguvunaanibwa Kitatta gwa kugezaako kulemesa kukwata bantu amagye be gaali geetaaga ng’abasinga baali bammemba ba Bodaboda 2010.

Yategeezezza nti poliisi yafunye okwemulugunya okuva mu bavuzi ba bodaboda 35 abalumiriza aba Bodaboda 2010 okubatuusaako ebisago nga okwemulugunya kwabwe bakutwalidde avunaanyizibwa ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala n’emiriraano Johnson Olal.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...