TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatwala ekibuga Ntebe boogedde ku ky'okuggala ebbaala mwe baakubidde omugenzi Moze

Abatwala ekibuga Ntebe boogedde ku ky'okuggala ebbaala mwe baakubidde omugenzi Moze

Added 2nd February 2018

AMYUKA akulira okuteekeratekera ekibuga ky'e Ntebe, Dan Fred Lutaaya atangaazizza ku nsonga z'okuggala ebbaala ya DE BAR omuyimbi Radio mwe yali agenze okuwummulako ne banne kyokka n'akubibwa omuntu atannategeerekeka, ekyamuviirideko okufa.

 AMYUKA akulira okuteekeratekera ekibuga ky'e Ntebe, Dan Fred Lutaaya ng'ayogera

AMYUKA akulira okuteekeratekera ekibuga ky'e Ntebe, Dan Fred Lutaaya ng'ayogera

Bya Godfrey Ssempijja

Lutaaya okwogera bino abadde asisinkanye abaamawulire mu kibuga e Ntebe mu ttuntu lya leero ku Lwokuna.

Agambye nti ekibuga Ntebe kinene nnyo nga kirina eby'obulambuzi bingi, era n'olwekyo abakungu abakitwala baatudde mu lukiiko lw'ebyokwelinda omwabade Poliisi , RDC , n'abakulembeze abalala ne basalawo okuggala ebbaala eno nga bakozesa obuyinza obwabaweebwa.



Ebbaala ya De Bar eyaggaddwa

Lutaaya ategeezezza nti baasazeewo okuggya layisensi ku bbaala eno kuba tebasobola kubakkiriza kukola ng'eggwanga lyonna liri mu kukungubaga olw'okuviibwako omuntu w'omugaso.

Agambye nti abakulira ebbaala eno basobola okudamu okusaba okubagulawo nga bayita mumisoso gyebalina okuyitamu naye nga siyakugulwa mangu .

Ayongeddeko boogedde ne Poliisi wamu n'abakulembeze abalala okulaba nga abantu abakola nga bakanyama mu kibuga e Ntebe balina okuba okumanyibwa ate nga batendeke bulungi, n'alabula bannannyini mabbaala mu Ntebe okussaawo obukuumi obumala mu bifo ebikyakalirwamu byonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...