TOP

Muka Kirumira asimattuse okuttibwa abazigu

Added 2nd February 2018

MUKYALA wa Afande Kirumira asimatuse okuttibwa abantu abamuwondedde okuva mu maka ge e Bulenga-Gogonya ne bagezaako okumusikambula okuva ku bodaboda kwe yabadde atudde nga baagala agwe mu mmotoka emulinnye.

Bya PONSIANO NSIMBI

Mariam Kirumira  eyabadde atambulira ku bodaboda ng'ava mu maka gaabwe ng'agenda okulaba bba mu kaduukulu ka poliisi ku Railway gye yatwaliddwa oluvannyuma lw’okusimbibwa mu kkooti ya poliisi e Naggulu ku Lwokuna .

Ono agamba nti abatemu baabadde batambulira mu mmotoka ekika kya Mark II enzirugavu era ng’ekikolwa eky'obutemu kino baabadde bakimutuusizzaako ku nkulungo y'e Busega nga badda ku Norther By Pass, omu ku basajja eyabadde mu mmotoka eno ng’atudde mu mutto  gw'emabega yagguddewo oluggi nga yeekutte yeenywezezza n'asikambula olugoye ng'ayagala okunkuba wansi kyokka owa bodaboda n'abalabuukira n'ayongeza siipidi era tetwazzeemu kubalabako.

Omusajja eyabadde ayambadde ebidduguva nga ne ku maaso ataddeko galubindi ezirugavu gwe sikyayinza kujjukira bwe yabadde ansikambula  bino bye bigambo bye yampereekerezza; ‘’Mutulemesaza nnyo naye ku luno tubalina mujja kusaanawo n’obwo Bukirumira bw'ozaala obugenda okutulumya emitwe enkya tetujja kubukkiriza kubeerawo’’

Mariam Kirumira ng'alaga oluggi lw'ennyumba yaabwe olwakuuliddwamu abasirikale nga bakwata bba kyokka ne bataluzzaawo

Tweyongeddeyo n’olugendo okutuuka  ku poliisi ya Railway awatuukira era amaaso gaagukidde ku  musajja eyabadde awaka mu kukwata omwami wange era bwe nnamubuuzizza omwami wange gy'ali n'antegeeza nga bwe yatwaliddwa e Nalufenya.

Nnalinnye bodaboda ne nzira ku poliisi y'e Bulenga ne nkola sitatimenti era ne nzigulawo omusango gw’okutiisibwatiisibwa n’okwagala okuntuusaako obulabe ku fayiro nnamba SD Ref 22/02/02/2018 era akulira poliisi y'e Bulenga n'ankakasa nga bw'agenda okukola okunoonyereza ku musango guno.

Hajji Abubaker Mulalo Kawooya, taata wa Kirumira eyasangiddwa mu maka ga mutabani we yasabye  Pulezidenti Museveni akulembera abanene n'abatono alagire abalina omwana we bamuyimbule oba bw'aba alina omusango alamulwe na bwenkanya era akkirize n’okusaba kwe awummule agenda akole emirimu emirala gye yasomerera.

Hajji Abubaker Mulalo Kawooya taata wa Kirumira ng'annyonnyola

Ono awanjagidde n’omuduumizi wa poliisi, Kale Kayihura okumuddiza omwana we nga mulamu nga bwe yamumukwasa era n'amusaba bw'aba alina ensobi z'akoze amusonyiwe.   

'Njagala omwogezi wa poliisi  aveeyo ambuulire omusango ogwatwazizza omwana wange e Nalufeenya,'' Hajji Kawooya bwe yabuuzizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abantu nga babuuza ku Amuriat.

Amuriat abuuzizza ku balonz...

PATRICK Oboi  Amuriat (POA) eyeesimbyewo ku bwa pulezidenti owa FDC   ayolekera Kabale naye asoose  ku ssundiro...

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo alonded...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...