TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasajja 4 balaze engeri maama wa Moze gye yabacangamu

Abasajja 4 balaze engeri maama wa Moze gye yabacangamu

Added 4th February 2018

Abasajja 4 balaze engeri maama wa Moze gye yabacangamu

 Asiimwe omu ku balumiriza nti taata Moze ng'ali ku ssimu

Asiimwe omu ku balumiriza nti taata Moze ng'ali ku ssimu

MAAMA w’omuyimbi Moses Sekibogo (Moze Radio) Jennipher Nakasuuba atabudde ebintu n’asukka. Yadde abasajja bakyeyongera okuvaayo okulumiriza nga bwe bazaala Moze, asazeewo kwesikira n’asigaza kukungubagira mwana we. Ng’oggyeeko abasajja abasatu okuli ow’e Jinja, Burundi ne Tooro, ate wavuddeyo ow’e Rwanda nga naye alumiriza nti ye taata omutuufu.

Abasajja bano yagenda abacanga mu ngeri nti talina gwe yabeera naye mu ngeri ya nkalakkira era bwamala okubeera nabo ng’abaviira ng’agenda kutandika bulamu bubwe. Abasajja bannyonnyola bati;

NNAMUKADDE SAUL KALIBWAMI (70) okuva ku kyalo Galikwoleka mu ggombolola y'e Kamira mu Luweero yeesowoddeyo n'ategeeza ng’omugenzi Moze Radio bw’ali omwana we era ng'ayagala aziikwe ku biggya bya bajjajabe ku kyalo kino. Yagambye nti bwe wabaawo obusobozi bw'okukebera omusaayi bandikikoze, omusaayi gwabwe ne gutazaawa kuba ne nnyina yali tabagambangako nti omwana takyali waffe. Kalibwami yategeezezza nti mutoowe omugenzi, David Luyinda eyafi ira e Rwanda ye yali kitaawe wa Radio nga yazaalibwa 1982 mu ddwaliro e Jinja era nga nnyina baalongoosa mulongoose.

Kalibwami agamba nti kitaawe.

Agamba nti erinnya lya Moses Sekibogo kitaabwe, Christopher Sekalamba ye yalimutuumira ku kyalo Serinyabi e Ngogwe n'abatizibwa mu kkanisa e Kiyobe mu Mbikko era nti abaddenga ajja nnyo ewa mutoowe James Kalemeera e Butanza mu Luweero. "Radio ffe tumuzaala era twali ne muto wange nga tusula ku nju za Khalid Nyende e Mbikko gye twavanga okusunda amata gye twagwira ku mwana muwala Jane Nakasuuba n'atuzaalira abaana babiri omuli Radio ne Sylivia Kansiime gwe yazaala mu 1984", bwe yagambye.

Yagasseeko nti Nakasuuba bwe baayawukana ne mutoowe mu 1985 yamulekera abaana bombi nga mu kiseera ekyo Moze yalina emyaka 10 kyokka nti oluvannyuma yabanona n'abatwala e Walukuba ne Kimaka era nnawuliranga nti omwana baamugaba Busoga ng'abiyita bya lubalaato.

Yagambye nti nnyina wa Radio yajja ne muwala waabwe Kansiime ne basulawo ennaku kyokka n'agamba mu kyalo Radio abadde tajjangayo. Musajja mukulu yasindise n’abagambibwa okuba baganda ba Moze ne bajja ku Bukedde ne bongera okuleeta bwiino.

OMUTOORO NAYE ALEESE BWIINO Nze George Asiimwe Kateba era Jane namusisinkana ku luguudo lwa Wiliiam mu Kampala mu 1985 ne tusula mu wooteeri ekiro kimu n’afuna olubuto. Kuva dda nga nkimanyi nti nze nzaala Moze naye nakisirikira ekyama ekyo olwa maamawe okunyiiza ng’amugabye ew’omusajja Nakintije e Minyinya mu Busoga. Nze no nakulirako ne Buganda e Luweero mu Kiwanguzi era eyo bampitaKatongole wadde nga nabeerayo akaseera katono naye bwe mbeera eno ewammwe mba neddira nte.

 Ebiggya by’abagambibwa okuba bajjajja ba Moze e Luweero.

Essaawa eno ndi ddereeva wa takisi e Kampala- Fort Portal naye ng’ogyeko okukola ogwa wooteeri n’emirimu emirala mu budde we nalabira maama awa Moze, nali nvuga n’ebimotoka bi lukululana. Ekinnuma be bantu abannemesezza okuziika omwana wange ewaffe ku biggya ekitegeeza nti ne bazzukulu bange bayinza okuziikibwa eyo bano gye baagala okuziika omwana wange mu bukyamu.

Abeefuze eby’okuziika banjogeredde ebitiisa era nze okuva lwe yafa ntiisiddwatiisiddwa omwali n’okungoba ku ddwaaliwo lya Case (Hospital) nga ngenzeeyo okumulaba nga mulwadde. Kale baali tebammanyi naye ne bwe nannyonyola abaali bavunaanyizibwa bali ng’abaalina ekkobaane nga tebaagala nveeyo.

Naye nze saagala kya bugagga kyonna ku mwana wange. Ekinnuma be bantu obutamanya nti ye nze kitaawe kwe kugamba omusaayi gwange ne guzaawa. Omwana oyo abaddenga ajja ewange n’ankyalira nebaganda be e Fort. Nze nzaala bayimbi bokka era nnina n’omwana omulala gwe nazaala mu mukyala atali maama wa Moze naye naye muyimbi y’oyo eyeeyita Bonny M naye ng’ate olulala yeeyita Moze Radio kubanga bafaanana nnyo n’akalevu olowooza ye Moze eyafudde.

Saasobola kufuna mukisa gutuuma mwana wange mannya kubanga nnyina bwe yagenda n’olubuto e Busoga n’afumbirwayo omusajja omulala, omwana wange yamugabira omusajja oyo. Saamutuuma mannya era nze mbadde muyita Moze Radio ng’abantu abalala bwe bamuyita kubanga sandimutuumidde mannya mu kkubo ng’ate ewaffe amannya tugatuuma tumaze na kukola kijjulo. Kye nandisinze okwagala kwe kuziika omwana wange ku biggya bya jjajjaabe ebituufu e Fort Portal.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...