
Musoke ng’ali ne mutabani we.
OMUSUUBUZI w’ebyuma anoonya omwana we eyamuggyibwako ng’atwalibwa e Nalufenya nga n’okutuusa kati tamanyi gy’ali. Bernard Musoke, ow’e Buziga yagambye nti, “Yali ava mu maka ge ng’agenda mu Kampala ne mutabani we Dareen Andrew Musoke ne basanga abasajja babiri ne bamusaba okubatwalako.
Nga bali mu mmotoka waliwo eyabakubira ne boogera amannya gaabwe nga David Babyenda ne Joseph Masinde ne bansaba okubatwala ku Jinja Road era twali twakatambulako akabanga katono emmotoka n’etwekiika mu maaso. Abasajja basatu baavaamu n’abaali mu mmotoka ne baggyayo emmundu ne bantwala mu ofiisi ya Fransis Olugu e Naggulu.
Olwatuuka mu ofiisi ya Olugu bantegeeza nti, bantwala Nalufenya nti, nnali ntolosezza ababbi be baali baagala abaali mu mmotoka endala. Awo we nakoma okulaba ku mwana wange era bwe banzigya mu kkomera tebamunziriza ate bwe mbamusaba bantiisatiisa”, bwe yategeezezza.