TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Walusimbi Ssengendo asabye abaganda okukuuma ennono n'eby'obuwangwa

Minisita Walusimbi Ssengendo asabye abaganda okukuuma ennono n'eby'obuwangwa

Added 6th February 2018

Minisita Walusimbi Ssengendo asabye abaganda okukuuma ennono n'eby'obuwangwa

 Mmeeya wa Nakawa ng'asika mu mukono gwa Minisita Walusimbi Ssengendo

Mmeeya wa Nakawa ng'asika mu mukono gwa Minisita Walusimbi Ssengendo

MINISITA w’Obuwangwa,ennono,amasiro n’Obulambuzi, Denis Walusimbi Ssengendo agambye nti abantu ba Buganda bwebataveeyo kukuuma buwangwa bwabwe eggwanga lyabwe lyandifuuka olufumo.

Minisita awadde eky'okulabirako eky’abagenda okwanjula ne bazinira ku buko ate n’abakulu obutawabula bavubuka nga boogedde Oluganda olukyamu!

Bino yabyogeredde mu Lukiiko lw’eggombolola ya Mumyuka Nakawa ku Lwokuna February 1,2018 bwebabadde basoma alipoota yeebyo ebyakolebwa mu kitundu ekyo mu 2017.

walusimbi agamba nti awatali nnono na buwangwa,Obwakabaka tebusobola kubeerawo era naawa eky’okulabirako ky’Obwakabaka bwa Roma obwasanaawo nga busudde olulimi lwabwo.

“Ekikola Obwakabaka z’ennono n’obuwangwa naye ndaba ensangi zino namwe abantu abakulu mwetabye mu bikolwa by’okunafuya obuwangwa bwaffe. Mukkiriza mutya abaana abazze okwanjulwa okuzinira ku buko namwe ne mukuba mu ngalo.

Ebyo tebiri mu buwangwa bwaffe era kyova olaba nti obufumbo tebukyawangaala kubanga ebintu byonna ebikolebwa ku mukolo ogwo bibeera byakuzannya buzanyi kyokka ate nga bagenda okutandika ensonga enkulu ey’obufumbo obunyweza eggwanga,” Walusimbi Ssengendo bweyagambye.

Meeya wa Munisipaali y’e Nakawa, Balimwezo Nsubuga yetabye mu lukiiko luno n'alaga obwennyamivu ku ngeri abaana gye bakuzibwamu ensangi zino naawa eky’okulabirako ky’abaana abato abali wakati w’emyaka 10-15 abasiba bakwatibwa mu bubbi n’efujjo  mu kitundu kye Nakawa.

“Abaana abato abo bangi tuli mu kulwanagana nabo naye ssebo Minisita wateekwa okubeerako ekikolebwa naddala okuva mu bazadde okwongera amaanyi mu nsonga y’okubagunjula. Nebaza bannange mu buwereeza bwa Kabaka kuba banyambye mu bintu bingi okuli enkola ya Bulungibwansi era basaana okwebazibwa,” Balimwezo bweyategeezezza.

Ye Omwami w’essaza ly’e Kyadondo, Kaggo Patrick Mugumbule yebazizza ab’eggombolola eno olw’enteekateeka eno eraga nti byonna byebakola mu mwaka birambikiddwa bulungi n'abasaba okugenda mu maaso n’okulaga eky’okulabirako kino.

Ow’eggombolola Mumyuka Nakawa Hajj Ahmed Matovu yategezezza nga bwebafuba okuteeka mu nkola, enkola z’Obwakabaka okuli okukunga abantu okulwanyisa omusujja- kaweefube gwebaliko mu kiseera kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...

Mondo Mugisha ng’ayogera eri abaamawulire. Emabega be bakanyama abassiddwa ku kkanisa okukuuma. Tunuza kkamera y’essimu yo mu kalambe olabe vidiyo.

Pasita Ssenyonga mumuboole ...

Omusumba Mondo Mugisha y’omu ku bakungubazi abeetabye mu kukungubira Paasita Yiga Abizzaayo e Kawaala. Mu butaluma...

Kayanja ng'ali mu situdiyo ye.

Wuuno 'mutabani wa Nabbi Ka...

JOB Kayanja y’omu ku ba pulodyusa abeekoledde erinnya. Wadde abayimbi tebakyakola olw’omuggalo gwa ssennyiga omukambwe,...

Pasita Kayiwa mu lumbe.

Paasita Kayiwa ayogedde ens...

Omusamize yandabula nti nali waakufa mu nnaku musanvu, kyokka ekyewuunyisa ate ye yafa ku lunaku olw’omusanvu....