TOP

Abbye mutoowe namugabira omusajja

Added 7th February 2018

Zam Nambi 21, yakwatiddwa poliisi ya Kira Road oluvannyuma lw’okudduka n’omwana wa Shafinah Nakaayi omutuuze w’e Natteta Nazigo ekisangibwa e Kayunga n’amutwala e Bukoto mu Munisipaali y’e Nakawa.

Nakaayi n’omwana we gwe babbye.

Nakaayi n’omwana we gwe babbye.

Bya HENRY KASOMOKO

OMUKAZI abbye omwana wa munne owa wiiki essatu okuva e Kayunga n’amuleeta e Kampala okumugabira muganzi we gw’amaze ebbanga ng’amusuubiza omwana.

Zam Nambi 21, yakwatiddwa poliisi ya Kira Road oluvannyuma lw’okudduka n’omwana wa Shafinah Nakaayi omutuuze w’e Natteta Nazigo ekisangibwa e Kayunga n’amutwala e Bukoto mu Munisipaali y’e Nakawa.

Oluvannyuma lw’omwana ono okubbibwa ku ssaawa 11:00 ez’olweggulo maama we Nakaayi yasoose kulowooza nti waliwo eyamututte ng’akaaba era agenda kumuzza.

Abaana abaabadde bazannyira awaka baamutegeezezza nti, Nambi yamututte n’ensawo.

Nakaayi yategeezezza nti, mu kiseera omwana we yabulidde yabadde anaaba.
“Saasoose kutya kubanga Nambi mwana wa baze omukulu nga ndowooza amutambuzzaamu bagenda kukomawo.

Oluvannyuma nategeezezza balamu bange ne tutandika okunoonya Nambi mu bitundu byonna gye twabadde tumusuubira okubeeramu, n’abula”, Nakaayi bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti baagenze ku poliisi e Nazigo ne baggulawo omusango ku fayiro SD:REF: 21/27/01/2018.

Yategeezezza nti waliwo mukwano gwa Nambi eyabatuukiridde n’abawa essimu gye baakubyeko nnannyini yo n’abagamba nti, yaliko muganzi wa Nambi ne baawukana n’abagamba nti, Naye Nambi ayinza okuba ng’ali Bukoto.

Poliisi y’e Nazigo yakolaganye n’eya Kira Road mu Kampala n’ezuula akazigo ka Robert Mande 22, ng’ono gwe yabadde agabidde omwana.

Oluvannyuma lw’okukwata Nambi ne muganzi we baabatutte ku poliisi e Kira Road gye baasuze ne babongerayo ku poliisi y’e Nazigo.

Nambi yagambye nti, yabadde aliko muganda we gwe yabadde atwalidde bbebi amulabeko amuzze awaka.

Bwe yabuuziddwa ky’abadde amuliisa yagambye nti abadde amunywesa mazzi omuli ‘gulukosi’.

Mande muganzi wa Nambi yategeezezza nti Nambi bwe yasembayo okumulaba ku Lwomukaaga n’amutegeeza nga bwe yali asemberedde ebbanga ly’okuzaala.

Yagasseeko nti mu kiro ekikeesa Ssande, Nambi yamukubira essimu nga bwe yali ku muzigo gwe e Bukoto nti era yali azadde.

Akulira poliisi ya Kira Road Peace Nansaba yakubirizza abawala okukendeeza emivuyo gye bakolera mu basajja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....