TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Butcher bafunye obutakkaanya n'abalufula e Nakawa

Aba Butcher bafunye obutakkaanya n'abalufula e Nakawa

Added 7th February 2018

Aba Butcher bafunye obutakkaanya n'abalufula e Nakawa

Bya Sandra Namirimu

BAKINJAAJI mu divisoni ya Nakawa bakukulumidde abakozi b’omulufula olw'okwagala okubaggyako emirimu nga babasuubuza ennyama ku buseera ate ne baguza ne ba sekinnoomu kiro kubanga bbo aba butcher baba tebakyakola.

Bano ab’egattira mu kibiina kya KABUTA okwogera bino babadde basisinkanye mmeeya wa Nakawa Ronald Balimwezo, abakugu mu kukebera n’okutabula eddagala, abakungu ba KCCA n'abakulira Lufula ku divisoni e Nakawa mu lukiiko oluyitiddwa okuttaanya ku nsonga z’okukozesa ebiragalalagala ku nnyama okujikuuma nga teyonooneka.

Abakinjaaji nga bakulembeddwamu sentebe waabwe mu Nakawa Hajji Zubairi Bukenya ategeezeza nti abakozi mu Lufula bagezezzaako okubaggya mu kutunda ennyama ate nga nabo baagala okusigala ku mulimu kubanga kwe balya. 

Ono agamba aba lufula basasanya enjiri nti aba butcher batunda ennyama erimu eddagala nga bagenderera kubaggya mu mulimu basigalemu bokka kubanga babasuubuza ennyama ate ne basigala nga baguza naba kiro nga kino kibaluma kubanga bbo bagibawa ku bbeeyi nnene nga yensonga lwaki n'abasinga bassa ebiragalalagala ku nnyama ereme kubafaako.

Akiikiridde sentebe wa Lufula Wiberforce Muteesasira ategeezezza nti baakukola ku nsonga ya lufula okutunda ennyama mu kkiro wabula n'ategeeza nti abakinjaaji baagala nnyo okulaba butcher zaabwe nga ziriko ennyama nga kyekisinze okubawaliriza okukozesa ebiragala okukuuma ennyama kubanga teggwa ku middaala.

Mmeeya wa Nakawa Ronald Balimwezo asabye abakinjaaji okutuukiriza  ebisaanyizo bya butcher bweyandibadde okugeza okubaamu amazzi ag’okya n'agannyogoga, okubaamu bbalaafu, nga bino abakinjaaji abasinga tebabirina.

Dr. Robinson Nabaasa okuva mu KCCA agamba baakolako okunoonyereza ne bakizuula nti butcher zikozesa Sunami ku nyamba wabula ku butcher 70 nga nnya zoka zezimukozesa,  ono agamba bintu bingi ebirina okwegenderezebwa byetulya okugeza tetulina kussa byakulya ku mawulire kubanga bwona bulwadde bwetuyingiza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...