TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaana abaakwatibwa mu bumenyi bw'amateeka e Mutungo bakubaganyiza abazadde empawa mu lukiiko

Abaana abaakwatibwa mu bumenyi bw'amateeka e Mutungo bakubaganyiza abazadde empawa mu lukiiko

Added 7th February 2018

Abaana abaakwatibwa mu bumenyi bw'amateeka e Mutungo bakubaganyiza abazadde empawa mu lukiiko

Bya Sandra Namirimu

MMEEYA wa Nakawa Ronald Balimwezo, ne RCC wa Nakawa  Jackie Kemigisha, ssaako ne OC Andreck Nuwamanya owa Poliisi ye Mutungo bayise olukiiko gaggadde mwebasisinkanidde bazadda ba baana abaakwatibwa nga bagambibibwa okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka.

Olukiiko luno lw'abadde ku Twins e Mutungo era nga bazadde ba baana abaakwatibwa beebazizza nnyo abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo mu kitundu kye Mutungo olwa kaweefube eyakoleddwa okubataasa ku bumenyi bw'amateeka mu kitundu kyabwe.

Abazadde okwogera bino kiddiridde Poliisi ye Mutungo okukola ekikwekweto gye buvuddeko mwebaayoolera abaana 14 abagambibwa okutigomya Mutungo n'ebyalo ebiriranyeewo.

Abazadde baakubaganye empawa ng'abamu bagamba nti abaana baabwe abamu tebabeerangako mu bumenyi bw'amateeka wadde nga baakwatibwa nga basangiddwa mu bibanda bya firimu eby'enjawulo.

Abazadde baasabye Poliisi ekole ebikwekweto eggale ebifo byonna ebigambibwa okwonoona abaana omuli ebibanda bya firimu ssaako n'ebifo ebirala mwebasiiba nga bazannya obuzannyo ku Computer.

Ye Mmeeya wa Nakawa Ronald Nsubuga Balimwezo yasoose n'ava mu mbeera oluvannyuma lw'abamu ku bazadde okuvaayo ne bategeeza nti abamu ku baana baabwe baabakwatidde bwereere tebabeerangako bamenyi b'amateeka n'ategeeza nti yo poliisi keekole okunoonyereza kw'ayo era bw'eneekizuula nti ddala abaakwatiddwa beenyigira mu bumenyi bw'amateeka bajja kukangavvulwa okutuusa lwe banaaterera ne badda mu mbeera ey'obuntu.

Atwala Poliisi y'e Mutungo Andreck Nuwamanya ategeezezza nti bbo nga poliisi baakugenda mumaaso nga bakola ebikwekweto kubanga omulimu gwa poliisi kulwanyisa bumenyi bw'amateeka.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...