TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebyawongo ebyasaba abantu 15 bisattiza ab'e Kyengera mu Lwengo

Ebyawongo ebyasaba abantu 15 bisattiza ab'e Kyengera mu Lwengo

Added 7th February 2018

Ebyawongo ebyasaba abantu 15 bisattiza ab'e Kyengera mu Lwengo

Bya Florence Tumupende

ABATUUZE ku kyalo Kyengera A mu ggombolola ya Lwengo Rural mu disitulikiti ey'e Lwengo bali mukusattira olw'omukazi agambibwa okuteeka olukalala lw'amannya g'abatuuze 15 battibwe alyoke afune obugagga.

Zainab Asalimana 45 abatuuze gwe balumiriza okuleeta ebyokoola mu kitundu kyabwe nga mu kiseera kino yasibyewo amaka ge n'adduka okwetegula ekibambulira.

Abatuuze nga bakulembeddwamu Paul Mutunzi bategeezezza nga bwe balumbibwa amajiini nga gabatuga,okukozesa bakazi baabwe kwosa n'okwogerera ku baana abato nti temugenda kufuna buwerero okutuusa ng'abantu 15 abatuweebwa bamaze okuttibwa.

Era kigambibwa nti amajiini gano gakabatemye nga bwe gaagala okusookera ku bantu bataano ng'omwezi guno tegunaggwako ekivudeko okubatuuza obufo.

 

Mutunzi agamba nti yatuukirira omukazi ono Asalimana n'amutegeeza nga bwe yagenda ewomusamize Abudu eyamusaba obukadde 2,000,000/- n'abantu 15 ab'okuttibwa alyoke amugaggawaze ng'agamba nti ensimbi zonna yazimalayo kyokka talabanga by'abugagga byamuwa.

Abatuuze banenyeza poliisi y'e Kyengera etabayambye kuyigga mukazi ono era ne basaba abazira kisa baveeyo bataase obulamu bwabwe ng'embeera tenaba ku sajjuka.

Abantu 15 bebagenda okukafiiramu nga kubano kuliko Abuduh Byakatonda,Paul Mutunzi,Sula Kakooza, Benafaasi Ssaazi, Fulugensio Taamale n'abalala.


Baweze nga bwe bagenda okutwalira amateeka mungalo basanyeewo ennyumba y'omukazi ono singa poliisi n'abasawo b'ekinnansi tebasitukiramu ku bataasa bulamu bwabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...