TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obadde okimanyi nti butto bw'empirivuma ayamba abakyala ku bizimba mu lubuto- Omukenkuku annyonnyola

Obadde okimanyi nti butto bw'empirivuma ayamba abakyala ku bizimba mu lubuto- Omukenkuku annyonnyola

Added 7th February 2018

Obadde okimanyi nti butto bw'empirivuma ayamba abakyala ku bizimba mu lubuto- Omukenkuku annyonnyola

 Omukenkufu Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch

Omukenkufu Julius Nyanzi owa Prof Bioresearch

EMPIRIVUMA, abantu abamu bagiyita ekisansasa nga kuno kwe baggya ensaansa eziruka emikeeka (abamu baguyita olukindukindu) ne ze bakozesa okunyeenya amatabi. Wabula omuti guno bwe gukula guteekako ebibala ebiyitibwa empirivuma. Olw’obugumu bw’omuti guno kwe baggya n’erinnya lya Kabaka erya Lukomwa.

Ensigo z’empirivuma ze zimu ku nsigo ezikyasinze okukaluba era omuti kwe ziva gumala ebbanga erisoba mu myaka 50 nga gusika eminnyo mu ttaka ne gugiyingiza mu nsigo zino. Enkima n’ebisodde birya ensigo zino ne bitalumbibwa ndwadde. Tezirina bulabe ku muntu, era tuzirya naye engeri gye tuzitegekamu si ntuufu. Abamu basooka kuzisiikako ate ekitta ebirungo ebirimu, osaanye kuzirya nga mbisi naye zikaluba awo ffe aba Pro Biorearch tukwanguyirizza ne tukamulamu butto.

Obucupa obulimu butto w’empirivuma n’emikebe gy’ensaano.

Era butto akamuddwaamu ayamba bino; lOkwongera omutima amaanyi n’okugumya ebinywa ne nnabaana, era kyova olaba edda abakyala nga bali lubuto nga bazirya ne basobola obutazaalira ku biso. N’olumu nga bazaalira waka ku kitooke. lEgumya amagumba, omuntu n’atambula olugendo oluwanvu naye nga takooye era bw’otunuulira Abasenegal abazirya nnyo baba bagumu ate nga balina amaanyi. Tunuulira ku bazannyi b’omupiira abavaayo.

Ezibukula enseke z’abakyala kuba erimu ekirungo kya ‘Nicotinic acid’ ekizibukula enseke z’abakyala amagi ne gasembera omukyala ne kimwanguyira okufuna olubuto. lEyamba ku bakyala mu nsonga obutalumizibwa era bakozesa butto ono. lNnungi ku bantu abalina enkwaso ennafu, naddala ssinga omukozesa ng’omugasse wamune butto ava mu biryo by’ensujju. 

 Omusajja ng’akutte obucupa obulimu butto w’empirivuma n’emikebe omuli ensaano.

Ziyamba abaana abasoma kuba butto alimu vitamiini B6 ayamba omuntu okulowooza n’okukwata amangu. lButto ayamba okukkakkanya ku alusa. lAyamba ku binyama ebikwata mu nnyindo naddala mu baana ne baba nga baziyira olumu kibaviirako okufa. Ebizimba mu nnabaana kuba etereeza obusimo bw’omubiri n’otafuna bizimba. lAbantu abeerabira ennyo naddala abakadde, butto abayamba okuba nga tokyerabiralabira. Akola yugati, oddira butto w’empirivuma n’omugatta mu yugati n’okola yugati azzaamu amaanyi ate nga wa butonde.

Empirivuma ekuzzaamu amaanyi g’ekisajja n’okuwangaalira mu kisaawe. lEyamba ku bantu abalina obulwadde bw’abazira ssinga onywa akajiiko kamu ku mazzi agabuguma. lAbaana abatera okulumbibwa endwadde ebayamba okuzirwanyisa. Ekibi empirivuma bagitemye naye kye kiseera okutandika okugisimba. Bw’oba onywa oteeka akajiiko kamu mu mazzi agabuguma. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...