TOP

Omugagga Samona bamututte mu kkooti

Added 8th February 2018

Omugagga Samona bamututte mu kkooti

 Samona ng'ava ku kkooti e Makindye

Samona ng'ava ku kkooti e Makindye

OMUGAGGA Ssalongo Kasawuli Mukasa amanyiddwa nga Samona, atwaliddwa mu kkooti y’amaka e Makindye lwa kugaana kulabirira baana ba mukyala we Lilian Nafula Nalongo bwebaayawukana emyaka ena e Mabega.

Kiddiridde eyali Nalongo we, Lilian Nafula Nalongo okuddukira mu kkooti y’amaka e Makindye wiiki eno nga yeemulugunya ku Samona okulemera abaana baabwe abasatu okuli; Alexis Mukasa 6, Adriana Nakato 5 ne Henry Wasswa 5,  naalemwa okugoberera ekiragiro kya kkooti ekiragira Samona okubeera n’abaana mu luwummula ate ye nnyaabwe Lilian Nafula abeere nabo mu biseera by’okusoma.

Mukyala wa Samona gweyayawukana naye Nafula Nnalongo ku kkooti e Makindye

Nafula agamba nti, Ssalongo Samona yatwala abaana mu December w’omwaka oguwedde nga baakawummula okuva ku ssomero lya Kampala Kindergarten gyebabadde basomera, nti kyokka oluwummula bwerwaweddeeko ate nabalemera nga ne ku ssomero tebaliiyo kyagamba nti, kikontana n’ekiragiro kya kkooti kyeyawa nti Nafula  yaalina okubeera n’abaana mu biseera by’okusoma, kwekuddukira mu kkooti emuyambe.

Omugagga  Samona mu kkooti abadde awerekeddwaako abantu ab’enjawulo,   wabula omulamuzi Richard Kamba abadde mu musango guno agambye nti, waakuwa ensala y’omusango  ku lw’okubiri lwa wiiki ejja olw’obukulu bw’ensonga y’okusoma kw’abaana.

Bwebafulumye kkooti, Nalongo Nafula afukamidde wansi natambuza amaviivi nga yeegayirira  eyali bba Samona okumuwa abaanaabe kuba bwe bulamu bwe, wabula nga ye ng’atambula butambuzi okweyongerayo, ekimuleetedde okukaaba aga jjulujulu.

Nnalongo ng'akaabira ku kkooti oluvannyuma lwa Samona okumumma abaana be okubeera nabo

 

Nafula ne Samona bamaze ebbanga lya myaka ena nga baawukanye olw’obutabanguko mu maka nga Nafula agamba nti omugagga Samona yali amutulugunya omwali; okumukubanga emiggo buli kaseera namutuusaako ebisago eby’amaanyi.

George Musisi, looya wa Nafula agambye nti alina essuubi nti Nlaongon agenda kuddizbwa abaana be nategeeza nti balinze nsala ya mulamuzi ku lw’okubiri balabe ekiddako. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....