
Mulumba eyakwatiddwa.
Khalid Mulumba amanyiddwa nga High Tower agambibwa okuba omu ku bamenyi b’amateeka aboolulango mu Kawempe ng’abeera Kibuye.
Kigambibwa nti wiiki ewedde yamenye mmotoka ya Chrispus Mugabi akola mu ofiisi ya pulezidenti gye yali asimbye e Nakulabye okumpi n’ebitaala ku ssaawa 2:00 ez’ekiro n’abbamu ensawo omwabadde pisito n’essimu ekika kya Samsung n’adduka era okuva olwo babadde bamunoonya.
Wabula baamuguddeko mu ssabo lya Ssaalongo Ssendowooza erisangibwa mu muluka gwa Makerere III mu Kawempe gye yabadde agenze okusiba omusango baleme kumukwata.
Mulumba yakwatiddwa abaserikale ba Flying Squad ssaako Ssendowooza ne batwalibwa ku poliisi y’e Wandegeya, Mugabi gye yaloopa omusango oguli ku Fayiro SD: 50/31/01/2018.
Mulumba yabyegaanyi n’agamba nti ye musajja musuubuzi wa maliba mu Lufula y’oku Kaleerwe n’eya Port Bell.
Yagasseko nti Ssendowooza kitaawe muto, yabadde agenzeeyo kumulabako si kumuganga.
Wabula obujulizi Ssendowooza bwe yawadde poliisi bwawukana n’obwa Mulumba bwe yategeezezza nti Mulumba amumanyidde emyezi etaano emabega ng’era abadde agenda ku nsonga ezenjawulo okuli n’okumusibira emisango gy’aba azzizza nga ne ku luno kye kyabadde kimututteyo abaserikale we baabasangidde .
Abatuuze baategeezezza nti High Tower abbira nnyo mu Kawempe, Kiwatule, Kawaala, Bwaise ne ku luguudo lwa Bombo.
Mpanga Musajjakaawa akulira abasawo b’ekinnansi mu muluka gwa Makerere III e Kawempe yategeezezza nti abasawo b’ekinnansi tebaliiwo kukugira bamenyi b’amateeka ng’era Ssendowooza yabadde alina okugenda ku poliisi n’agitemyako oba si kyo yandifunye omuntu n’amutuma ku poliisi nga Mulumba tategedde n’akwatibwa.