
Ekitundu kya galagi ekyakutte omuliro.
Galagi bbiri ezisangibwa e Nalukolongo okuliraana essomero lya Eliana zaakutte omuliro mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano. Bino we byabeereddewo bamakanika baabadde bannyuse dda.
Kasim Mugerwa omu ku bamakanika mu kifo kino yannyonyodde nti; omuliro gwakutte ssaawa musanvu ekiro.
Abasula okumpi ne galagi bwe baakubidde bamakanika amasimu nabo ne bakubira poliisi ezikiriza omuliro.
Abatuuze be baasoose okugezaako okuguzikiza naye ne bigaana kubanga n’emmotoka ya poliisi ezikiza omuliro eyasoose okujja yalemereddwa okutuusa bwe baleese ennene ezizikiza omuliro ogw’amaanyi nga ye yasobodde okuzikiza omuliro obuteeyongerayo kubanga gwabadde gutuuse ku kisenge ekyawula galagi n’essundiro ly’amafuta.
Galagi eno ebadde esulamu mmotoka za bakasitoma ezireeteddwa okukanikwa n’endala ze basuzaawo. Ebirala ebyasaanyiziddwaawo ge maduuka ga sipeeya buwoteeri obubadde munda mu galagi.