TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Famire ya Moze entamizza okuyamba abantu - Balaam

Famire ya Moze entamizza okuyamba abantu - Balaam

Added 10th February 2018

BALAAM ebya Moze byongedde okumutabula n’awera nti takyaddamu kuyamba bantu kuba tebasiima.

 Ssembajjwe (ayimiridde) ng’ayogera mu lukiiko lwa famire ya Moze olwasooka olwetabwamu ne Bryan White (ku kkono). Mu katono waggulu ye Balam eyeekokkodde okuyamba famire ya Moze

Ssembajjwe (ayimiridde) ng’ayogera mu lukiiko lwa famire ya Moze olwasooka olwetabwamu ne Bryan White (ku kkono). Mu katono waggulu ye Balam eyeekokkodde okuyamba famire ya Moze

Kino kiddiridde olutalo olw’ebigambo olwabaluseewo wakati wa Balaam ne famire ya Moze eyategeezezza nti si mmativu olw’engeri amabugo gye gaakwatibwamu.

Balaam eyatuukiriddwa eggulo (ku Lwokutaano) yagambye nti okuyingira mu bya Moze yakikola kuba yali mukwano gwe wabula kati yejjusa olw’ebigambo ebimwogererwa okumwonoonera erinnya.

FAMIRE YA MOZE EZZEEMU OKUTUULA

Abooluganda lwa Moze bazzeemu okutuula okulaba engeri gye bagenda okutambuza ebintu era mu lutuula luno baliko ebintu bingi bye baayogeddeko ebyabanyiga okuviira ddala mu kulwaza omuntu waabwe.

Omu ku baganda ba Moze ayitibwa Meddie Ssembajjwe, yategeezezza nti omugenzi ng’ali ku kitanda, Balaam yajja n’abawa amagezi nti bwe kiba kisoboka, batunde ennyumba y’e Makindye omugenzi gye yali abeera ssente ezivaamu bazigabane ne Jeff Kiwanuka eyali maneja wa Goodlyfe kubanga si musanyufu.

Ssembajjwe ayongerako nti Balaam yabagamba nti Goodlyfe tejja kufuna mirembe nga tesasudde Jeff kubanga gy’ali awera nti tayinza kukkiriza ntuuyo ze kugendera bwereere nga yassaamu ssente mu kugula n’okuzimba ennyumba y’e Makindye.

Ssembajjwe ebigambo bya Balaam byabanyiiza okubibagamba mu kiseera ng’omuntu waabwe ali mu mbeera gye yalimu ne beebuuza ekyali ekigendererwa.

Yagambye nti ekiseera ekyo kyali kizibu ng’omuntu ali ku byuma.

Kyali kikyamu Balaam okuleeta ekiteeso ng’ekyo mu kaseera akazibu ng’ako. Kyokka Balaam yabaanukudde n’agamba nti ekintu kino teyakireeta mu mutima mubi kubanga yali amanyi embiranye eriwo wakati wa Goodlyfe ne Jeff ng’alowooza nti okukkakkanya embeera, abantu bano balina okutunda ebyobugagga bye baakola bonna, buli ludda lumatire.

Wabula Balaam yagambye nti awulira ennaku olw’abantu bano okwogera ebintu ebimwonnera erinnya ng’ate ye yavaayo n’aymirirawo okulaba nga omukolo gw’okuziika Moze gubeera gwa kitiibwa.

Yawadde ekyokulabirako eky’abasajja abaali bakaayana be yakubirira okwali n’omu eyali agenda mu kkooti eyimirize okuziika kyokka bino byonna n’abitangira naye kati laba bye bamusasulamu!

Aba famire ya Moze baagambye nti beebazizza nnyo Balaam olwa byonna bye yakola naye tebakyamwagala era nti buli kimu akibalekere bajja kukyekolerako kubanga tebakyasobola kuddamu kutegeeragana naye.

Ssembajjwe yalumbye Balaam nti yabakakasa nti buli kimu kyasasulirwa okumaliriza entaana ya Moze nti kyokka n’okutuusa kati entaana tewali kyali kyongeddwaako. Ku nsonga y’entaana, Balaam yagambye nti abeemulugunya boogeza butamanya ngeri bintu gye bikolebwamu.

Yannyonnyodde nti okuziika bwe kuggwa, entaana emala ekiseera ekigere esobole okukala n’oluvannyuma ekolebwa era bwe kiri ne ku ntaana ya Moze.

Yagambye nti abaakola ku ntaana eno balinda kiseera kye baagiwa okukala era bajja kugenda bagimalirize.

Nti kyokka bino byonna bimuluma abantu bano okugenda nga bamwogerako mu ngeri eteri ya buvunaanyizibwa.

Balaam yagambye nti ebintu bino bimutamye kubanga kirabika waliwo aba famire abaali baagala okugaggawalira mu lumbe kye bavudde batandika okwogera ebitakwatagana okuwubisa abantu.

Aba famire ya Moze baawunzise basaba Balaam abaviire ku bantu ababayamba nga nga Bryan White ne bagamba nti omuntu ng’ono bamulaba ng’ajja okubayamba mu kiseera kino ekizibu famire ky’eyitamu omuli n’okutwala mu maaso emirimu gy’omugenzi awamu n’okulabirira abantu be yali alabirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....