TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omu ku bayizi ba Ndejje S.S abaafiridde mu kabenje aziikiddwa

Omu ku bayizi ba Ndejje S.S abaafiridde mu kabenje aziikiddwa

Added 11th February 2018

Omuyizi wa Ndejje SS Isaac Ssewajje, omu ku bayizi abaafiridde mu kabenje nga bagenda okukima ebigezo bya S.4, aziikiddwa leero ku kyalo Kimole mu muluka gw'e Kisalizi- Lwampanga mu Buluuli wakati mu miranga n'okwazirana okuva mu booluganda.

Kino kiddiridde omu ku bayizi okupakula mmotoka okuva mu maka ga bazadde be n’assaamu banne basatu bagende bafune ebyabuvudde mu bigezo bya S4 kyokka ne bagwa ku kabenje basatu ne bafiirawo.

Akabenje kaabadde ku kyalo Nanywa okumpi n’e Bombo mmotoka omwabadde abayizi b’e Ndejje SSS abaatuula S4 omwaka oguwedde bwe yatomedde loole.

Abaafudde kuliko Vincent Male mutabani wa Town Clerk w’e Kasangati Harriet Nakyaze ne Kawuma, Isaac Ssewajje mutabani wa George Ssonko e Kawanda ne Mark Cedrick Muwanguzi Ndugga.

Mu mmotoka mwabaddemu ne Timothy Njogeera enzaalwa y’e Mukono. Male abadde n’emyaka 16 yafunye obubonero 14 , Njogeera ow’emyaka 16 n’afuna obubonero 29, Ndugga ow’emyaka ,17, yabadde afunye obubonero 31 ng’abadde nzaalwa y’e Kaayi e Kawanda ate Isaac Sewagye ow’emyaka 16 yafunye 15.

Baabadde batambulira mu mmottoka ey’ekika kya Brevis nnamba UAR 860W nga basanyufu nnyo era beekubisizza n’ebifaanyi ne babissa ku mukutu gwa WhatsApp nga kuliko obubaka ‘’ Ndejje tujja’’ kyokka bwe baatuuse ku Kkumi n’Omwenda ne batomera mmotoka ey’ekika kya Fuso nnamba UAR 246F eyabadde esimbye ebbali w’ekkubo nga ddereeva waayo akyamye mu kirombe kya bbulooka okulamuza bbeeyi y’amataffaali. Basatu ku bo okwabadde Cedrick Ndugga Muwanguzi , Vincent Male ne Isaac Ssewajje baafiiriddewo ate munnaabwe ow’okuna Vincent Njogeera n’addusibwa mu ddwaaliro e Mulago ng’ali bubi.

Omumyuka wa Kimbugwe omwami atwala essaza ly'e Buluuli, Dr. Bonte Kyeyune ng'abuuza Ku Ying. George Ssonko azaala Ssewajje

Akabenje kaabaddewo ku Lwokutaano essaawa 8:00 ez’omu ttuntu era abadduukirize baatemyemu bateme mu mmotoka.

Ebifaananyi bya Dickson Kulumba

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...