
Omugagga Nabukeera
Bya ANNET NALUGWA
Akawumbi kalimu obukadde 1,000 ekitegeeza nga Nabukeera baamututteko obukadde 8,500!
Ng’ayita mu kkampuni ye eya Namaganda Ltd, yasasula ssente ezo ng’agula ekizimbe ekiyitibwa 888 Hotel e Nabugabo mu Kampala wakati nga kiri ku poloti 47.
Okugenda mu ddiiru eno, kyaddirira ekirango mu mawulire ga New Vision nga December 24, 2015 nga Crane Bank kati eyatwalibwa DFCU eranga okutunda ku nnyondo ekizimbe ekyo oluvannyuma lwa kkooti okulagira nga December 21, 2015 kitundibwe.
Kkampuni ya Nabukeera ye yayitamu mu bonna abaasaba era n’asasula 8,500,000,000/-.
Kati Nabukeera addukidde mu kkooti ataase ssente ze. Mu mpaaba ye, agamba nti bwe yamala okusasula ekizimbe ekyo, yali ateekateeka okukimenya okuddamu okuzimbawo, eyali nnannyini kyo bbanka gwe yakisuuza Omuchina Miao Huaxian ne yeekubira enduulu mu kkooti n’afuna ekiragiro ekiyimiriza Nabukeera okukozesa ekifo kino okutuusa ng'omusango gwe yateekayo guwedde.
“Okuva mu 2015, tewali kigenda mu maaso ate nga ssente z’ekisuubuzi buli kiseera ziba zikola okuzaala amagoba”, Nabukeera bwe yategeezezza mu mpaaba ye. Nabukeera akiikirirwa bannamateeka aba Tareemwa & co Advocates mu musango oguli mu kkooti etawulula enkaayana z'ebyobusuubuzi.
Guwulirwa omulamuzi Billy Kainamura. Nabukeera ayagala kkooti ewalirize bbanka ya DFCU okumuddiza obuwumbi munaana n’obukadde 500 n’amagoba ga buwumbi bubiri n’obukadde 874 (2,874,285,048/- )ze yasasula ku bbanja lye yeewola ng'agenda okugula ekifo kino.
Ayagala endala obuwumbi busatu (3,332,083,748/-) okusasulira by'afiiriddwa. Obumu ku bujulizi obwaleeteddwa mu kkooti bugamba nti nga January 28, 2016 Nabukeera yasasula obuwumbi buna ate obuwumbi buna n’obukadde 500 zaasasulibwa kkampuni ye eya Namaganda Ltd.
Era olwamala okusasula ne bamuwa ekyapa olwo ettaka ne likyusibwa ne lizzibwa mu kkampuni ye eya Namaganda Ltd.
Nga February 1, 2016 Crane Bank yalagira babbulooka ba kkooti aba Fit Auctioneers & Court Bailiffs okutegeeza abapangisa ku kizimbe kino nti, nnyini kifo akyusiddwa era balina okukivaamu asobole okuddamu okuzimbawo era KCCA yali emukkirizza.
Omuchina Miao Huaxian eyali nnannyini kizimbe yaddayo mu kkooti nga February 8, 2016 n’afuna ekiragiro ekiyimiriza Nabukeera okukozesa ekifo kino okutuusa ng'omusango guno Miao gwe yateekayo guwedde nga kati giweze emyaka ebiri nga takikozesa.
Era ekiragiro kya kkooti kyalagira nti ssente z'obupangisa eziva mu kizimbe kino ziteekebwe mu kkooti.
Nabukeera agamba nti endagaano y'okugula ekifo kino mu katundu nnamba 4.0, Crane Bank yeeyama nti, Namaganda Ltd y’erina okutwala ekifo kino oluvannyuma lw'okusasula ssente 8,500,000,000/-.
Wabula okuva January 28, 2016 okutuusa kati bbanka eremeddwa okumuwa ekifo kye oba okumuddiza ssente ze n'ebyo by’afiiriziddwa.
Agamba nti alina ssente ze yeewola okugula ekizimbe okuva mu bbanka ya DFCU ne Diamond Trust Bank nga bbanka zombi zaamuggyako amagoba mangi.
Nabukeera y’omu ku bakyala abatono mu Kampala abaleebya abaami mu bugagga n’okukola obusuubuzi.
- Ye nnannyini Victor Plaza mu Kikuubo. Ye nnannyini Kisekka Auto Centre Plaza ekyasengukiramu abasuubuzi abaali bakolera mu katale ka Kisekka nga kamenyeddwa era kitudde ku ttaka erigyako ebizimbe bisatu.
- Ye nnannyini NANA Arcade e Nabugabo.
- Mwannyina w’abagagga okuli; John Ssebalamu owa Freedom City ne Bosco Muwonge owa Gaggawala Shauliyako.