TOP

Maama wa Sheebah aleese bwino ku muwala we

Added 14th February 2018

MAAMA w’omuyimbi Sheebah Karungi annyonnyodde engeri taata we gye yamufunyisa olubuto so nga yali afumbiddwa muto we. Kuno kwe yagatta obutafa ku muwala we kyokka n’afuna amaanyi agamukolimira n’okuleka ekiraamo ekimugaana okulinnya mu lumbe lwe.

Mukyala Kabazungu maama wa Sheebah ku ddyo

Mukyala Kabazungu maama wa Sheebah ku ddyo

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

MAAMA w’omuyimbi Sheebah Karungi annyonnyodde engeri taata we gye yamufunyisa olubuto so nga yali afumbiddwa muto we. Kuno kwe yagatta obutafa ku muwala we kyokka n’afuna amaanyi agamukolimira n’okuleka ekiraamo ekimugaana okulinnya mu lumbe lwe.

Edith Kabazungu yavuddemu omwasi n’agamba nti, yafumbirwa bba gwe yayogeddeko erya Lutwama ne bazaala abaana mukaaga.

Nti wabula olumu aba ali ku kyalo Kayanja, muganda wa Lutwama ayitibwa Ahmada Kimali Musoke n’amufunza era n’amufunyisa olubuto lwa Sheebah.

Agamba nti yamira ppini n’ategeeza bba, nti olubuto lwa mukulu we, kyokka naye kyamwewuunyisa okulaba nga Lutwama yayombamu bitono n’abivaako.

Kitaawe wa Sheebah omugenzi Kimali Musoke bw’abadde afaanana.

 

Yagambye nti yakizuula luvannyuma nti Kimali yali yeesasuza olwa Lutwama okumwagalira omukazi era ensonga we zaakoma.

Eggulo Bukedde yakubidde maama wa Sheebah essimu n’anyumya bw’ati; “Abooluganda Kimali ne Lutwama baalina ejjoogo.

Kimali yanneefunira ng’agamba nti, muganda we naye yamwagalira mukazi we n’asalawo yeesasuze.

Era omwo mwe mwava n’omwana naye ekyannyiiza kwe kundeetangako oluteekateeka ng’akikola n’okunnyooma. Abadde n’entondo, ayogerayogera nnyo n’okugeya era omwana (Sheebah) kye yava amukyawa kuba naye abadde amwogerako.

Bw’abadde tannafa ng’amussaako amateeka nti, alekere awo okuyimba. Nti akunamira ebyalo n’okuwemula eggwanga n’okuswaza eddiini y’Obusiraamu.
Kyokka talina kye yayamba mwana oyo ng’akula era kitaawe omuto Lutwama ye yagezaako.

Afudde amugamba agendeyo amulage baganda be nga nze nneewuunya kimu oba ddala takimanyi nti, ne gye yakulira ewa Lutwama baganda be! Sigaana na bali (ab’ewa Kimali) baganda be naye akimanye nti talina kuleeta lugezigezi.

Ky’ova olaba ne Sheebah yakoowa era yalaama kumuziika ku kiggya ky’e Kyaggwe ekya Lutwama si Buikwe.

Omwana teyaziise naye tekyavudde ku butakkaanya wabula tali mu ggwanga n’essimu ze teziyitamu era ayinza n’okuba teyategedde.”

Abooluganda lwa Sheebah abaabadde mu kuziika.

 

SHEEBAH AYANIKA KITAAWE

Abadde tayogera birungi ku kitaawe. Abantu babaddenga tebamanyi lwaki Sheebah tayogera birungi ku kitaawe ate ng’era tayogera mannya ge. Abaddenga ayogera kimu nti; Maama wange era ali nga ye taata.

Bwe yali mu konsati ye eyasooka gye yatuuma ‘Nkwataako’ ku Hotel Africana nga December 2, 2016, yategeeza abantu abaali abangi nti, ennaku gye yayitamu ng’akuzibwa nnyina yali nnyingi n’atuuka n’okudduka awaka anoonye ekyokulya ng’embeera mbi.

Yanyumya era nga bwe yatabuka ne maama we olw’okwewaggula n’ava mu ssomero atandike eby’okuzina n’okuyimba maama we yali akola mu kyuma kya mmwaanyi mwe yaggyanga ezimuweerera.

Yagattako nti nnyina yamutwalanga ne baganda be abalala ne balonda ensawo nnamba ey’emmwaanyi nga buli nsawo ejjudde babawa 2,000/- ezitaabamalanga.

 Ennyambala ya Sheeba ebadde etabula kitaawe

 

SHEEBAH Y’ANI
Sheebah yazaalibwa November 11, 1989 era abadde anyumya nnyo nti nnyina alinga ye kitaawe. Maama we yamukuliza Kawempe Stuart Dokolo gy’abeera kati.

Yamuweerera e Kawempe, Muslim Primary ne siniya gye yaviiramu mu siniya eyookubiri n’agendako ku Midland High School e Kawempe ne bigaana n’atandika okuzinira mu bibiina by’abayimbi na ddala ekya Stingers ku myaka 15.

Mu 2006 yeegatta ku kibiina kya Obsessions ekyali kisinga okuzina mu ggwanga wabula n’akivaamu nga kiweddemu amaanyi n’atandika okuyimba yekka.

Kati muyimbi mu kibiina kya Team no Sleep ekikulirwa Jeff Kiwa akaayana n’ekibiina kya GoodLyfe omubadde Moze Radio ng’agamba nti ennyumba y’ekibiina kino e Makindye agirinako omugabo.

Sheebah ye yazannya mu firimu ya ‘Queen of Katwe’ nga Shakira.
Ezimu ku nnyimba z’ayimbye kuliko; ‘Farmer’, Ndi wa njawulo, Nkwataako, Twesaana, Kisasi Kimu, Agenda Akkuse, Tonzoleya, Ice Cream, John Rambo n’endala.

Mu mazina n’ennyimba Sheebah by’azze yeetabamu, ayambala obukete n’azina ng’amansula era kitaawe Kimali Musoke afudde abyekokkola nga by’ebimu ku bisinze okubatabula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono