TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gav't esazizzaamu ekyapa kya Minisita Kibuule ekiriko enkaayana

Gav't esazizzaamu ekyapa kya Minisita Kibuule ekiriko enkaayana

Added 14th February 2018

GAVUMENTI esazizzaamu ekyapa Minisita Ronald Kibuule ky'agamba nti kweyagulira ettaka ly’e Kigaya- Ggolomolo e Buikwe mu Kyaggwe kubanga mu kukifuna teyayita mu makubo matuufu.

Minisita Kibuule

Minisita Kibuule

Minisitule y’ebyettaka yeyasazzewo bweti  olunaku lw’eggulo oluvanyuma lw’okuwuliriza okusaba okwatwalibwayo ekitongole ky’ebyettaka mu Buganda (Buganda Land Board) ng’ettaka lino bweriri ery’Obwanamasole n’olwekyo nga tewali muntu akkirizibwa kubeerako na kyapa.

Joseph Kibande nga y’akulira okuwandiisa ebyapa mu Minisitule eno yategezezza nti  bekenenyeza amateeka n’ebiwandiiko  byonna ebikwata ku ttaka lino nebakizuula nti lya Bwakabaka bwebatyo nebasalawo okusazaamu ekyapa kya  Kibuule.

“Okusinzira ku biwandiiko byetwekenenyeza ebyakolebwa mu 1923 ng’ekyapa ky’ettaka lino kya Bwakabaka, ekyapa Minisita Kibuule kyeyali afunye ku ttaka lino nekisazibwamu. Mu ngeri y’emu abalala bonna abalina ebyapa ku ttaka lino, balina okubikomyawo kubanga babirina mu bukyamu,” Kibande bweyategezezza oluvanyuma lw’ensisinkano y’enjuuyi zombie eyabadde ku kitebe kya minisitule eno.

Kibuule nga ye Minisita Omubeezi ow’amazzi era Omukiise wa Mukono North, ku ttaka ly’Obwanamasole lino, yali yafunako ekyapa ekiweza yiika 85 lyegula ku  Musa Kateregga ng’ono agamba nti ettaka eryo lyamuweebwa Namasole Sarah Natoolo.

Bannamateeka b’enjuuyi zombi okwabadde Deo Kalikumutima (BLB)ne Ambrose Tebyasa babadde mu nsisinkano eno era ng’okusalawo kuno kwasanyusizza abatuuze abali ku ttaka lino, Minisita Kibuule babadde agobaganya nga bagamba anti amazima gatuukiddwako.

Kino okutuukibwako, wabaddewo enteseganya eziwerako ku nsonga z’ettaka lino ng’okwasembayo kwabaddeyo ku lwa January 31,2018 buli luuyi nerusabibwa okuleeta ebiwandiiko ebituufu ebiraga nti lwe lunanyinni ttaka lino era okusinzira ku mwogezi wa BLB Denis Bugaya, Minisitule yagenze okumaliriza okwekenenya ng’Obwakabaka bwebulina ekyapa ekituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...

Nnawasa omubanda n'antamya ...

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya...