TOP

Abatabbuliiki batwala Mubajje mu kkooti

Added 21st February 2018

ABATABBULIIKI basazeewo okutwala Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje mu kkooti n’olukiiko lwe nga bawakanya amateeka ge yabataddeko agassaawo obukulembeze obupya mu Kampala, Ssemateeka wa Uganda Muslim Supreme Council ky’etekkiriza.

 Ssaabawandiisi w’Abatabbuliiki Hajji Ayub Nyende ng’ayogerako eri Abasiraamu oluvannyuma lw’okusaala ku muzikiti e Nakasero.

Ssaabawandiisi w’Abatabbuliiki Hajji Ayub Nyende ng’ayogerako eri Abasiraamu oluvannyuma lw’okusaala ku muzikiti e Nakasero.

MAHAD WAMALA

Bagenda kumuvunaana n’abakungu okuli ssentebe Abdul- Khadr Balonde, Ssaabawandiisi Hajji Ramadhan Mugalu, bonna abatuula ku lukiiko oluddukanya Uganda Muslim Supreme Council.

Ku Lwokubiri lwe baakwasizza Mufti n’olukiiko lwe ebbaluwa ezibayita mu kkooti.

Abatabbuliiki bagambye nti basazeewo okugenda mu kkooti ewalirize Mufti wa Uganda, Sheikh Mubajje n’olukiiko lwe okumenyawo bye baalangiridde n’okubaziyiza okubissa mu nkola kubanga nti okusinziira ku Ssemateeka w’Obusiraamu, tebalina buyinza kuyisa nsonga ezo.

Gye buvuddeko, Uganda Muslim Supreme Council yalangirira nga bw’etonzeewo obukulembeze obupya ne bateekawo ebitundu by’Obusiraamu mwenda nga bikulemberwa ba Kadhi.

Bwe baatuuse mu Kampala, buli munisipaali baagifudde disitulikiti nga baakugironderamu Disitulikiti Kadhi. Mu masekkati ga Kampala, tebaataddewo bukulembeze bwonna ne balekera obuyinza ofi isi ya Mufti okuba nga y’eneddukanyanga ekifo kino.

Kino kyatabudde Abatabbuliiki nga bagamba nti kigendereddwaamu kutwala muzikiti gwa Masijid Noor ku William Street n’ettaka ly’e Kitante.

Ku Lwokutaano, Ssaabawandiisi w’Abatabbuliiki mu ggwanga, Hajji Ayub Nyende yategeezezza Abasiraamu abaakuηηaanidde ku muzikiti e Nakasero oluvannyuma lw’okusaala Juma nti Mufti wa Uganda n’olukiiko lwe lwatonzeewo obukulembeze ne beewa n’emyaka etaano mu maaso nga bagendereddemu kwezza omuzikiti gwa William n’okutwala ettaka ly’Abasiraamu eriri e Kitante.

Nyende mu kunnyonnyola yagambye nti, “byonna ebiri emabega w’okutondawo obukulembeze obupya naddala wano mu Kampala n’okwongezaayo okulonda okubadde okw’okubeerawo omwaka guno ne bakussa mu 2021 kigendereddwaamu kutwala muzikiti gwa William n’ettaka ly’e Kitante, Pulezidenti lye yagammba okuwaamu Abasiraamu ssente.

Amasekkati ga Kampala okugaggyako omukisa okubeera n’obukulembeze nga beekwasa nti mulimu emizikiti mitono (ekintu ekitali kituufu), kitegeeza nti Abasiraamu abali mu Kampala tebajja kubeera na mukisa gulonda mukiise anaabeera ku lukiiko lw’Obusiraamu olukulu. N’agamba nti okwo kuba kusossola.

Nyende yagambye nti, Ssemateeka ekkiriza okutondawo disitulikiti endala oba okuzigaziya nga muyita mu lukiiko olukulu, naye nga mumaze kutunuulira muwendo gw’Abasiraamu abali mu kitundu ekyo, era nga mutaddewo ne ssente ezinaasobola okutambuza abakulembeze abalondeddwa ebbanga lya myaka ebiri, nga balina ne ofi isi mwe banaakolera emirimu gyabwe, ekintu Mubajje n’olukiiko lwe kye bataakoze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku bakungubazi mu maka ga Muzaata.

Ekiri mu maka g'omugenzi Sh...

Sheikh Nuhu Muzaata afudde ku Lwokutaano nga December 4, 2020. "Innalilahi wainailayhi Rajoun? Sheikh Nuhu Muzaata...

Sheikh Muzaata

Sheikh Nuhu Muzaata otusadd...

Sheikh Nuhu Muzaata afudde ku Lwokutaano nga November 4, 2020. "Innalilahi wainailayhi Rajoun? Sheikh Nuhu Muzaata...

Sheikh Nuhu Muzaata.

Kitalo: Sheikh Nuhu Muzaata...

Sheikh Nuhu Muzaata afudde ku Lwokutaano nga December 4, 2020. "Innalilahi wainailayhi Rajoun? Sheikh Nuhu...

Sheikh Muzaata

Kitalo Sheikh Muzaata afudde

 KITALO SHEIKH MUZAATA AFUDDE Kitalo! Sheikh Nuhu Muzaata Bbate afudde!. Ono abadde mu ddwaaliro ya International...

Harriet Nakwedde eyagenze okulambula ku Bukirwa mu ddwaaliro.

Maama eyakubwa ttiyaggaasi ...

MAAMA w'abaana Justine Bukirwa 45, eyakubwa akakebe ka ttiyaggaasi mu mbugo ne kamwabikiramu, avundira mu kalwaliro...